“Wa We Nnyinza Okuggya Ebiseera?”
1 Bangi ku ffe bwe tutyo bwe twemulugunya, kubanga obulamu bwaffe bulimu ebintu bingi nnyo eby’okukola. Kigambibwa nti ebiseera kye kintu ekisingayo okuba eky’omuwendo ate era kye kisingayo okubeera eky’ekkekwa ku bintu bye tulina. Kati olwo, wa we tuyinza okuggya ebiseera okukola ebintu ebisingayo obukulu, gamba ng’okusoma n’okuyiga Ekigambo kya Katonda?—Baf. 1:10.
2 Kye tulina okukola si kwe kugezaako okufuna ebiseera ebisingawo, wabula okusalawo kiki kye tulina okukola mu biseera ebyo bye tulina. Ffenna tuba n’essaawa 168 buli wiiki, nga 100 ku ezo tuyinza okuzimalira mu kwebaka n’okukola. Kati olwo tuyinza tutya okukozesa obulungi essaawa eziba zisigaddewo? Abaefeso 5:15-17 watukubiriza ‘obutatambula ng’abantu abatalina magezi naye ng’abantu abalina amagezi, nga twegulira ebiseera, era n’okutegeera Mukama waffe ky’ayagala bwe kiri.’ Ekyo kiraga obwetaavu obw’okukozesa mu bujjuvu buli kakisa konna ke tufuna okukola ebintu Yakuwa by’agamba nti bye bisinga obukulu.
3 Yesu yageraageranya ebiseera byaffe ku bya Nuuwa. (Luk. 17:26, 27) Mu kiseera ekyo abantu baali beemalidde nnyo ku nsonga eza bulijjo ezikwata ku bulamu. Kyokka, Nuuwa yafuna ebiseera okuzimba eryato eddene ennyo era n’okubuulira. (Beb. 11:7; 2 Peet. 2:5) Yabifuna atya? Ng’akulembeza Katonda by’ayagala era n’amugondera, ‘ng’akolera ddala bye yamulagira.’—Lub. 6:22.
4 Kiki Ekirina Okukulembezebwa? Yesu yagamba: “Omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.” (Mat. 4:4) Buli wiiki tufuna ‘omugabo ogw’emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo.’ (Luk. 12:42) Ekyo kiba kitwetaagisa okubeera n’entegeka ennungi ey’okusoma n’okuyiga okusobola okugigaaya yonna tulyoke tuganyulwe mu bujjuvu. Olw’okuba tusiima emmere ey’eby’omwoyo, tetugirya mangu mangu ng’omuntu bw’ayinza okulya emmere ey’omubiri ng’ayanguyiriza. Okwawukana ku ekyo, okusiima okwa nnamaddala kutuleetera okuwaayo ebiseera ebisingawo okuyiga era n’okuganyulwa mu bintu eby’omwoyo.
5 Okulya emmere ey’eby’omwoyo kiyinza okutukulembera okutuuka mu bulamu obutaggwaawo. (Yok. 17:3) Kyetaaga okussibwa mu kifo ekisooka mu nteekateeka yaffe eya buli lunaku. Tuyinza okufuna ebiseera eby’okusoma Baibuli buli lunaku n’okweteekerateekera enkuŋŋaana z’Ekikristaayo? Yee, tusobola. Olwo nno, tujja kufuna “empeera ennene” eva mu kumanya n’okukola Katonda by’ayagala.—Zab. 19:7-11.