Okwejjukanya Ebikwata ku Kijjukizo
Ekijjukizo ky’omwaka guno kijja kubaawo ku Lwakuna, nga Maaki 28. Abakadde balina okwekenneenya ensonga eziddirira:
◼ Nga mutegeka ekiseera eky’okukuŋŋaanirako, mukakase nti obubonero tebuyisibwa ng’enjuba tennaba kugwa.
◼ Buli omu nga mw’otwalidde n’omwogezi, alina okutegeezebwa ekiseera kyennyini n’ekifo awanaabeera omukolo.
◼ Ekika ky’omugaati ogusaanidde n’enviinyo birina okufunibwa era bitegekebwe.—Laba Watchtower aka Febwali 15, 1985, olupapula 19.
◼ Amasowaani, eggiraasi, n’emmeeza esaanidde awamu n’ekitambaala eky’oku mmeeza birina okutegekebwa nga bukyali.
◼ Ekizimbe ky’Obwakabaka oba ekifo ekirala kyonna eky’okukuŋŋaaniramu kirina okulongoosebwa obulungi ng’olukuŋŋaana terunnatuuka.
◼ Abaaniriza abagenyi n’abanaaweereza obubonero balina okulondebwa n’okutegeezebwa nga bukyali ebikwata ku mirimu gyabwe, n’enkola eneegobererwa era n’ebikwata ku kwambala n’okwekolako mu ngeri eweesa ekitiibwa.
◼ Enteekateeka zirina okukolebwa okutwala obubonero eri eyafukibwako amafuta yenna ataasobole kubeerawo olw’obulwadde.
◼ Bwe kiba nti ebibiina ebisukka mu kimu bijja kukozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka kye kimu, wateekwa okubeerawo entegeka ennungi wakati w’ebibiina okusobola okwewala omujjuzo ku mulyango, mu luggya, n’awasimba emmotoka.