Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Maaki: Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo. Wajja kubeerawo kaweefube ow’okufuna abayizi ba Baibuli. Abantu bwe baba ng’ekitabo ekyo bakirina, muyinza okubawa akatabo Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri! Apuli ne Maayi: Mugabe Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Bwe muba muzzeeyo eri abantu abaagala okuyiga ebisingawo, nga bano mwe muli abo abaaliwo ku Kijjukizo, oba ku lukuŋŋaana olulala lwonna naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mugezeeko okubalekera akatabo Sinza Katonda. Mulabe nti mutandika okubayigiriza Baibuli mu katabo ako naddala bwe baba nga baamala dda okusoma akatabo Okumanya oba brocuwa Atwetaagisa. Jjuuni: Akatabo Learn From the Great Teacher. Singa abantu bagamba nti tebalina baana, muyinza okubawa brocuwa Atwetaagisa. Bwe mubalekera brocuwa, mufube okutandika okubayigiriza Baibuli.
◼ Okutandiika ne Maaki 1, 2004, Burundi ejja kufuuka ettabi.
◼ Ofiisi y’ettabi tekola ku kusaba kw’ebitabo okw’ababuulizi kinnoomu. Akubiriza akakiiko k’abakadde asaanidde okukola enteekateeka ekirango kisomebwe buli mwezi ng’okusaba kw’ebitabo okw’ekibiina okwa buli mwezi tekunnaweerezebwa ku ttabi, abo bonna abaagala ebitabo basobole okutegeeza ow’oluganda abikolako. Musabibwa okwetegereza ebitabo ebisabibwa mu ngeri ey’enjawulo.
◼ Kiba kirungi ekibinja ky’abantu 20 oba abasukkawo abateekateeka okukyalira Beseri okusooka okutegeeza ofiisi mu buwandiike nga bukyali. Mutegeeze ofiisi omuwendo gw’abantu abajja n’olunaku lwe bajja. Nga temunnakyala, musabibwa okusooka okwejjukanya ebiri mu Kasanduuko k’Ebibuuzo akali mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjuuni 2002 ku bikwata ku nnyambala esaanira n’engeri y’okwekolako nga mukyalira amaka ga Beseri.
◼ Ababuulizi nga bazadde abaawukanye ne bannaabwe mu bufumbo era nga boolekaganye n’obuzibu obukwata ku muzadde ki asaanidde okusigaza abaana oba ebikwata ku kubakyalira naye nga tekyesigamye ku bya ddiini, bayinza okufuna obuyambi mu Awake! aka Ddesemba 8, 1997, empapula 3-12; mu Awake! aka Okitobba 22, empapula 2-14; n’ekipande ekiri mu Awake! aka Apuli 22, 1991, olupapula 9.
◼ Omuwandiisi asaanidde okukakasa nti ofiisi etegeezebwa ebikwata ku mbeera y’ababuulizi ababatize bonna abajjuza foomu eyitibwa Kingdom Hall Volunteer Worker Questionnaire (S-82). Bwe wabaawo enkyukakyuka ebakwatako, gamba ng’okukyusa ekibiina oba okulondebwa okubeera omuweereza oba omukadde, foomu empya zirina okujjuzibwamu amangu ddala ne ziweerezebwa. Endagiriro ya nnakyewa oba essimu ye bw’ekyuka, oba bw’aba nga takyali mu mbeera nnungi mu by’omwoyo, abakadde balina okutegeeza Ofiisi Ekola ku Kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka amangu ddala okuyitira mu bbaluwa. Foomu ezo S-82 ezoogeddwako waggulu ezijjuziddwamu obulungi zirina okuweebwa omulabirizi w’ekitundu ng’akyalidde ekibiina kyammwe asobole okuziyitamu.