Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Mak. 15
“Okkiriza nti obufuzi obulungi bwandifudde ensi eno ekifo ekirungi okubeeramu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Baibuli ky’esuubiza. [Soma Zabbuli 37:11.] Tujja kusobola okunyumirwa emirembe egyo egijja okubeerawo ng’ensi yonna efugibwa omukulembeze omulungi. Magazini eno eraga Omukulembeze oyo y’ani.”
Awake! Mak. 22
“Musisi ow’amaanyi asobola okutta abantu ntoko era n’ayonona n’ebintu. Emirundi mingi ababa bakoseddwa basigala nga tebalina wa kwegeka luba, era nga beeyaguza luggyo. Kamagazini kano aka Awake! kalaga engeri abantu abakoseddwa bangi gye basobodde okwaŋŋangamu ebizibu ebijjawo oluvannyuma lwa musisi, era ne kannyonnyola nti musisi yalagulwako mu bunnabbi bwa Baibuli.”
The Watchtower Apu. 1
“Nsaba kwogerako naawe ku nsonga emu okuva mu Baibuli. [Soma Matayo 22:37.] Olowooza ekyo kitegeeza ki? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze omutwe guno: ‘Noonya Katonda n’Omutima Gwo Wamu n’Obusobozi bw’Okutegeera.’ Okukkiriza okutuufu kwandyesigamiziddwa ku mutima gwokka, oba kyandizingiddemu n’ebirowoozo? Eky’okuddamu kya muganyulo.”
Awake! Apu. 8
“Nga bw’okimanyi, ennaku zino si kyangu okulabirira amaka. Naddala okubeera maama mulimu gwa maanyi. Kamagazini kano aka Awake! kalina omutwe omulungi ogugamba nti “Okubeera Maama Omulungi Kyetaagisa Okubeera n’Amaanyi Agatali ga Bulijjo?” Nnandyagadde okukakulekera.”