Bye Tuyinza Okwogera Nga Tugaba Magazini
The Watchtower Feb. 15
“Abantu abamu beebuuza oba nga Katonda alina engeri ez’obuntu. Abalala bo bagamba nti waali naye beewulira nti abali wala nnyo. Naawe wali wewuliddeko bwotyo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze lwaki kikulu nnyo okumanya Katonda ng’omuntu. [Soma Yokaana 17:3.] Ojja kunyumirwa nnyo okusoma ku nsonga eno mu kitundu ekisooka eky’akatabo kano.”
Awake! Feb. 22
“Olowooza Katonda yakigenderera abantu bonna, nga mw’otwalidde n’abaana abato okuba nga tebalya bulungi era nga tebafuna mmere emala? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekisuubizo ekibudaabuda ekisangibwa mu Baibuli. [Soma Zabbuli 72:16.] Awake! kajja kukunnyonnyola ekiviirako embeera eyo embi, era n’ekisingawo obukulu nti Katonda asuubiza okugikomya amangu ddala.”
The Watchtower Mak. 1
“Twandyagadde okumanya endowooza yo ku kyawandiikibwa kino ekirungi ennyo. [Soma Matayo 5:10.] Omuntu asobola atya okuba omusanyufu ng’ate ayigganyizibwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ebitundu ebibiri ebisooka eby’akatabo kano byogera ku bantu abaasigala nga basanyufu wadde nga bayigganyizibwa. Ojja kunyumirwa okusoma ku ngeri gye baakikolamu.”
Awake! Mak. 8
“Okikkiriza nti wadde nga tulina ebizibu mu bulamu tulina ensonga ennungi okwebaza Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Emu ku nsonga lwaki tulina okumwebaza, ye ngeri gye twakolebwamu. [Soma Zabbuli 139:14.] Nga twesiimye nnyo okuba n’ebituyamba okutegeera nti obulamu bwa muwendo! Awake! eno ejja kukunnyonnyola ensonga eyo.”