Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Apul. 15
“Si kituufu nti waliwo eby’okusoma bingi nnyo leero? [Muleke abeeko ky’addamu.] Kyokka ku ebyo byonna tewali kya muganyulo kusinga ekyo ekyogerwako mu kyawandiikibwa kino. [Soma Yokaana 17:3.] Magazini eno ennyonnyola amakulu g’ebigambo ‘obulamu obutaggwaawo’ n’engeri gye tuyinza okufunamu okumanya okututuusa mu bulamu obwo.”
Awake! Apul. 22
“Wadde nga Yesu Kristo amanyiddwa nnyo okusinga omuntu yenna eyali abaddewo, abantu bangi tebamumanyi bulungi. Obadde okimanyi nti n’abatume ba Yesu bennyini baali baagala okumutegeera obulungi? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Makko 4:41.] Magazini eno etuyamba okutegeera Baibuli ky’eyogera ku ekyo ddala Yesu ky’ali.”
The Watchtower Maayi 1
“Omwagalwa waffe bw’afa, tuba twagala okuddamu okumulaba. Si bwe kiri? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bangi babudaabudiddwa bwe bategedde essuubi Baibuli ly’ewa erikwata ku kuzuukira. [Soma Yokaana 5:28, 29.] Magazini eno eraga ddi okuzuukira we kulibeererawo era n’abo abanaazuukizibwa.”
Awake! Maayi 8
“Abazadde abasinga obungi be balonderawo abaana baabwe bye balina okulaba. Okisanze nga kizibu okulondera ab’omu maka go vidiyo ezisaanira? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Abaefeso 4:17.] Magazini eno eraga engeri abazadde gye bayinza okuyambamu abaana baabwe okulonda eby’okwesanyusaamu ebirungi.”