Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini Apuli
The Watchtower May. 15
“Kirabika ebikolwa eby’obukambwe bigenda byeyongera bweyongezi. [Yogera ku kyokulabirako eky’omu kitundu kyammwe oba ku ekyo ekiri mu magazini.] Wali weebuuzizzaako ensonga lwaki abantu bakambwe nnyo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli yalagula nti obukambwe bwandyeyongedde. [Soma 2 Timoseewo 3:1-5.] Magazini eno eddamu ekibuuzo ekigamba nti ‘Obukambwe buliggwaawo?’”
Awake! Apu.
“Abantu bangi beeyita Abakristaayo. Olowooza kitegeeza ki okuba Omukristaayo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Yesu kye yayogera wano. [Soma Yokaana 15:14.] Ekitundu kino kiraga nti waliwo bingi ebyetaagisa ng’ogyeko omuntu okugamba obugambi nti Mukristaayo.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 26.
The Watchtower May. 1
“Abazadde bwe bafiirwa omwana waabwe banyolwa nnyo. Olowooza okubudaabudibwa bayinza kukuggya wa? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Abaruumi 15:5.] Magazini eno eyogera ku zimu ku ngeri Katonda gy’ayinza okubudaabudamu abo abakungubaga.”
Awake! May.
“Abantu abamu bagagga nnyo, ng’ate abalala bukadde na bukadde baavu. Olowooza ekiseera kirituuka abantu bonna ne babeera mu mbeera y’emu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze engeri Katonda gy’atunuuliramu abaavu. [Soma Zabbuli 22:24.] Magazini eno ennyonnyola essuubi Baibuli ly’ewa abaavu.”