Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Mak. 15
“Abantu batera okwogera ku kujja kwa Yesu Kristo. Ggwe olowooza otya, twanditidde okujja kwa Yesu Kristo oba twandikwesunze? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze engeri Yokaana, omuwandiisi wa Baibuli, gye yatwalamu okujja kwa Kristo. [Soma Okubikkulirwa 22:20.] Magazini eno ennyonnyola ekyo okujja kwa Kristo kye kunaatuukiriza.”
Awake! Mak.
“Abakulembeze b’ensi bangi balabika nga ba malala nnyo. Olowooza endowooza eno esobola okuleeta emirembe n’obumu mu nsi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Kino Baibuli ky’eyogera ku malala. [Soma Engero 16:18.] Ekitundu kino kinnyonnyola emiganyulo egiri mu kuba omuwombeefu.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 20.
The Watchtower Apu. 1
“Kumpi buli lunaku twolekagana n’ebibuuzo ebikwata ku bulamu bwaffe, amaka gaffe, n’omulimu gwaffe. Ggwe olowooza wa we tusobola okufuna eby’okuddamu ebyesigika era ebiyinza okutuyamba? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyo Baibuli ky’eyogera mu 2 Timoseewo 3:16. [Soma.] Magazini eno eraga engeri ez’enjawulo Baibuli z’esobola okutuyambamu.”
Awake! Apu.
“Mu bitundu by’ensi bingi, abantu balaba ng’emitindo gy’empisa gigenda giddirira. Kino naawe okyetegerezza? [Muleke abeeko ky’addamu.] Embeera ze tulaba leero zituukiriza obunnabbi bwa Baibuli. [Soma 2 Timoseewo 3:2-4.] Magazini eno eraga ensonga lwaki emitindo gy’empisa giddiridde era na biki ebinaavaamu.”