Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Feb. 1
“Olowooza embeera mu maka yandibadde etya singa abagalimu bonna bassa mu nkola amagezi gano? [Soma Abaefeso 4:31. Oluvannyuma muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kiwa amagezi amalungi okuva mu Baibuli ku ngeri gye tuyinza okugonjoolamu obutakkaanya era n’okusigala nga tulina obufumbo obw’essanyu.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 18.
Awake! Feb.
“Abamu balowooza nti Katonda alondoola buli nsobi gye tukola. Abalala balowooza nti asonyiwa ebibi byonna, ka bibe bya maanyi bitya. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Ebikolwa 3:19.] Ekitundu kino kinnyonnyola ebintu bisatu ebyogerwako mu Baibuli, omuntu by’alina okukola okusobola okusonyiyibwa Katonda.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 10.
The Watchtower Mak. 1
“Nandyagadde okumanya endowooza yo ku kyawandiikibwa kino ekimanyiddwa obulungi. [Soma Yokaana 3:16.] Wali weebuuzizzaako engeri okufa kw’omuntu omu gye kusobola okuviirako abalala okufuna obulamu obutaggwaawo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola bulungi engeri gye tuyinza okuganyulwa mu kufa kwa Yesu.”
Awake! Mak.
“Olowooza eddiini zonna nnungi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyo Baibuli ky’eyogera ku kusinza kw’abantu abamu. [Soma Makko 7:7.] Omuntu ayinza atya okumanya nti eddiini eyigiriza mazima, so si ‘mateeka g’abantu’? Ddala waliwo eddiini eyigiriza amazima? Magazini eno eddamu ebibuuzo bino.”