Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Feb. 15
“Oluusi, tuwulira abagamba nti waliwo ekyamagero ekyakoleddwa. [Waayo eky’okulabirako.] Abantu abamu bakkiriza ebigambo ebyo. Abalala babibuusabuusa. Magazini eno ennyonnyola obanga ebyamagero ebyogerwako mu Baibuli ddala byaliwo era n’ennyonnyola obanga ne leero bisobola okukolebwa.” Soma Yeremiya 32:21.
Awake! Feb. 22
“Mu biseera eby’edda, Katonda yalagira abaana okuwa bazadde baabwe ekitiibwa. [Soma Okuva 20:12.] Olowooza bamaama bassibwamu ekitiibwa ekibagwanira leero? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola ebizibu bamaama bye bafuna mu nsi nnyingi era n’engeri gye babyaŋŋangamu.”
The Watchtower Mak. 1
“Olowooza ensi yandibadde nnungi singa buli muntu agoberera okubuulirira kuno? [Soma Abaruumi 12:17, 18. Oluvannyuma muleke abeeko ky’addamu.] Eky’ennaku, oluusi n’oluusi abantu bafuna obutakkaanya. Magazini eno ennyonnyola engeri okussa mu nkola okubuulirira kwa Baibuli gye kiyinza okutuyamba ne tumalawo obutakkaanya era ne tuzzaawo emirembe.”
Awake! Mak. 8
“Buli mwaka, obwetaavu bw’amasannyalaze n’amafuta bweyongera. Olowooza kiki ekiyinza okubaawo singa lukya lumu ng’amasannyalaze oba amafuta tebikyaliwo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola engeri abantu gye banoonyerezza ku ngeri y’okufunamu amasannyalaze nga beeyambisa enjuba oba empewo. Ate era eyogera ne ku nsibuko y’ebintu ebyo ebikola amasannyalaze.” Soma Isaaya 40:26.