Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Mak. 15
“Abasinga obungi ku ffe twali tufiiriddwako omwagalwa waffe. Naye wali owuliddeko ku kisuubizo kino ekizzaamu amaanyi? [Soma Ebikolwa 24:15. Muleke abeeko ky’addamu.] Bangi beebuuza nti, Baani abalizuukira? Okuzuukira kulibaawo ddi, era kulibeera wa? Magazini eno etuwa eby’okuddamu ebyesigamiziddwa ku Baibuli.”
Awake! Mak.
“Abantu bangi bagamba nti Yesu Katonda. Kyokka, Peetero omuyigirizwa wa Yesu yamuyita Mwana wa Katonda. [Soma Matayo 16:16.] Olowooza kisoboka Yesu okuba Katonda ate nga mu kiseera kye kimu Mwana wa Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino ekiri ku lupapula 12-13 kiddamu ekibuuzo kino, nga kiwa endowooza ya Baibuli.”
The Watchtower Apu. 1
“Ebigambo bino ebimanyiddwa ennyo biraga obukulu bw’okufuna okumanya okukwata ku Katonda. [Soma Matayo 4:4.] Kyokka, abantu bangi bazibuwalirwa okutegeera Ekigambo kya Katonda. Naawe kikuzibuwalira okukitegeera? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ewa amagezi agayinza okukuyamba okutegeera Baibuli.”
Awake! Apu.
“Abantu bangi banoonya essanyu, naye kirabika batono nnyo abalifuna. Olowooza waliwo ekimu ku bino ekiyinza okuyamba abantu okufuna essanyu mu bulamu? [Mulage akasanduuko akali ku lupapula 9. Oluvannyuma somayo ekyawandiikibwa kimu ku ebyo ebiweereddwa.] Magazini eno ennyonnyola ebintu ebireeta essanyu erya nnamaddala ng’esinziira ku Baibuli.”