Okutuukiriza Okwewaayo Kwaffe
1 K’obe nga waakabatizibwa oba nga wabatizibwa emyaka egiwerako emabega, okyajjukira eddaala eryo ekkulu ennyo lye watuukako mu bulamu bwo. Okubatizibwa kwaffe si ye nkomerero, wabula ye ntandikwa y’obuweereza bwaffe eri Katonda. (1 Yok. 2:17) Kiki ekizingirwa mu kutuukiriza okwewaayo kwaffe?
2 Goberera Ekyokulabirako kya Kristo: Olwamala okubatizibwa, Yesu ‘yatandika omulimu’ gwe ng’abuulira “amawulire amalungi ag’obwakabaka bwa Katonda.” (Luk. 3:23; 4:43, NW) Mu ngeri y’emu, oluvannyuma lw’okulaga nti twewaddeyo eri Yakuwa nga tubatizibwa, twafuuka abalangirizi ab’amawulire amalungi abatongozeddwa. Wadde ng’ebiseera bingi n’amaanyi byetaagisa okusobola okufuna ebyetaago by’obulamu, omulimu gwaffe omukulu bwe buweereza obw’Ekikristaayo. (Mat. 6:33) Okufaananako omutume Pawulo, abo abeewaayo eri Katonda banoonya ‘okugulumiza obuweereza bwabwe’ mu kifo ky’okunoonya obugagga n’ebitiibwa. (Bar. 11:13) Otwala enkizo ey’okuweereza Yakuwa nga ya muwendo era n’okola kyonna ky’osobola okugulumiza obuweereza obwo?
3 Nga Yesu bwe yakola, naffe tuteekwa ‘okuziyiza Omulyolyomi.’ (Yak. 4:7) Oluvannyuma lwa Yesu okubatizibwa, Setaani yamukema, era mu ngeri y’emu leero, Setaani akema abaweereza ba Yakuwa abeewaddeyo. (Luk. 4:1-13) Olw’okuba twetooloddwa ensi ya Setaani, tuteekwa okwekuuma nga twewala ekintu kyonna ekiyinza okwonoona ebirowoozo byaffe oba emitima gyaffe. (Nge. 4:23; Mat. 5:29, 30) Abakristaayo babuulirwa nti ‘tebayinza kunywa ku kikompe kya Yakuwa ne ku kya balubaale.’ (1 Kol. 10:21, NW) Kino kitwetaagisa okwewala eby’amasanyu ebibi, emikwano emibi n’okukozesa obubi Internet. Kino era kitwetaagisa okwewala ebintu ebiva eri bakyewaggula. Okuba obulindaala eri ebintu bino n’emitego gya Setaani emirala kijja kutuyamba okutuukiriza okwewaayo kwaffe.
4 Katonda by’Atuwadde: Okutuyamba okutuukiriza okwewaayo kwaffe, Yakuwa atuwadde Ekigambo kye n’enkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. Gifuule mpisa yo okusoma Baibuli n’okusaba buli lunaku. (Yos. 1:8; 1 Bas. 5:17) Sanyukira enkuŋŋaana z’ekibiina. (Zab. 122:1) Kolaganira wamu n’abo abatya Yakuwa, era abakwata ebiragiro bye.—Zab. 119:63.
5 Ng’olina obuyambi bwa Yakuwa, osobola okutuukiriza okwewaayo kwo gy’ali era n’obeera n’essanyu okumuweereza emirembe gyonna.—Zab. 22:26, 27; Baf. 4:13.