LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 2/1 lup. 23-28
  • Otuukiriza Okwewaayo Kwo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Otuukiriza Okwewaayo Kwo?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Tebeegaana Kwewaayo Kwabwe
  • Ebyokulabirako eby’Omu Kiseera Kino eby’Okwewaayo
  • Endowooza Entuufu ku Kwewaayo Kwaffe
  • Okufuula Buli Lunaku olw’Omuwendo
  • Kuuma Endaba Yo nga Nnuŋŋamu
  • Omaliridde Kukola Ki?
  • Weeyongere Okuweereza Yakuwa n’Omutima Omunywevu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Lwaki Osaanidde Okwewaayo eri Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Okutuukiriza Okwewaayo Kwaffe
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • ‘Mugende Mufuule Amawanga Abayigirizwa, Mubabatize’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 2/1 lup. 23-28

Otuukiriza Okwewaayo Kwo?

“Buli kye mukola kyonna, mukikolenga n’emmeeme yammwe yonna ku bwa Yakuwa, so si ku bwa bantu.”​—ABAKKOLOSAAYI 3:23, NW.

1. Abantu beemalidde batya ku by’emizannyo?

ABAZANNYI batuuka batya ku ntikko? Mu kuzannya tena, omupiira, basketball, baseball, okudduka, goofu, oba omuzannyo omulala gwonna, abasingayo okukola obulungi batuuka ku ntikko olw’okwemalira mu bujjuvu ku kutendeka omubiri n’endowooza basobole okukola obulungi nga bwe kisoboka mu muzannyo gwe balonze. Embeera ennungi mu mubiri ne mu birowoozo eba nkulu nnyo. Okwemalira ku kintu mu ngeri eno kwe twandirowoozezaako kwokka nga tulowooza ku kwewaayo okw’omu Baibuli?

2. “Okwewaayo” kitegeeza ki mu Baibuli? Waayo ekyokulabirako.

2 Ekigambo “okwewaayo” kitegeeza ki mu Baibuli? “Okwewaayo” kivvuunulwa okuva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “okweyawula; okwawulibwawo.”a Mu Isiraeri eky’edda, Kabona Omukulu, Alooni, yateeka ku kiremba kye “akabonero akatukuvu ak’okwewaayo,” akaali akapande akamasamasa aka zzaabu akaaliko ebigambo by’Olwebbulaniya ebitegeeza “obutukuvu bwa Yakuwa.” Ekyo kyali kijjukizo eri kabona omukulu nti ateekwa okwewala okukola ekintu kyonna ekyandyonoonye awatukuvu “kubanga akabonero ak’okwewaayo, amafuta agafukibwako aga Katonda we, gaali ku ye.”​—Okuva 29:6; 39:30, NW; Eby’Abaleevi 21:12, NW.

3. Okwewaayo kwandikutte kutya ku nneeyisa yaffe?

3 Okusinziira ku kino, tuyinza okulaba nti okwewaayo nsonga nkulu nnyo. Kutegeeza okweyawulawo kyeyagalire ng’omuweereza wa Katonda era kwetaagisa enneeyisa ennyonjo. N’olwekyo, tuyinza okutegeera lwaki omutume Peetero yajuliza Yakuwa ng’agamba: “Munaabanga batukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu.” (1 Peetero 1:15, 16) Ng’Abakristaayo abeewaddeyo, tulina obuvunaanyizibwa bwa maanyi nnyo okutuukiriza okwewaayo kwaffe, nga tuli beesigwa okutuuka ku nkomerero. Naye kiki ekizingirwa mu kwewaayo okw’Ekikristaayo?​—Eby’Abaleevi 19:2; Matayo 24:13.

4. Tutuuka tutya ku ddaala ery’okwewaayo, era kuyinza kugeraageranyizibwa ku ki?

4 Oluvannyuma lw’okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Yakuwa Katonda n’ebigendererwa bye, n’okukwata ku Yesu Kristo n’ekifo kye mu bigendererwa ebyo, twasalawo ffe kennyini okuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna, amagezi gaffe gonna, n’obulamu bwaffe bwonna n’amaanyi gaffe gonna. (Makko 8:34; 12:30; Yokaana 17:3) Ekyo kiyinza n’okutwalibwa ng’okweyama kw’okola gwe kennyini, okwewaayo mu bujjuvu eri Katonda. Okwewaayo kwaffe tekwakolebwa olw’okukwatibwa ekinyegenyege. Twakulowoozaako n’obwegendereza awamu n’okusaba, nga tukozesa okutegeera. Bwe kityo, tekwali kusalawo kwa kaseera buseera. Tetuyinza kubeera ng’omuntu atandika okulima ennimiro ate oluvannyuma n’alekulira kubanga mulimu gwa maanyi nnyo oba kubanga amakungula gakyali wala nnyo oba si makakafu kubaawo. Lowooza ku byokulabirako eby’abamu ‘abakute ekyuma ekirima’ eky’obuvunaanyizibwa bwa teyokulase mu mbeera enzibu ennyo.​—Lukka 9:62; Abaruumi 12:1, 2.

Tebeegaana Kwewaayo Kwabwe

5. Yeremiya yali atya ekyokulabirako eky’enkukunala eky’omuweereza wa Katonda eyeewaddeyo?

5 Obuweereza bwa Yeremiya obw’obunnabbi mu Yerusaalemi bwamala emyaka egisukka mu 40 (647-607 B.C.E.), era tegwali mulimu mwangu. Yali amanyi bulungi ekkomo lye. (Yeremiya 1:2-6) Yali yeetaaga obuvumu n’obugumiikiriza okwolekagana n’abantu ba Yuda abakakanyavu buli lunaku. (Yeremiya 18:18; 38:4-6) Kyokka, Yeremiya yeesiga Yakuwa Katonda, eyamunyweza n’asobola okubeera omuweereza wa Katonda eyeewaddeyo.​—Yeremiya 1:18, 19.

6. Kyakulabirako ki omutume Yokaana kye yatuteerawo?

6 Ate kiri kitya eri omutume Yokaana omwesigwa, eyatwalibwa mu buwaŋŋanguse ku kizinga ky’e Patumo mu myaka gye egy’obukadde “olw’ekigambo kya Katonda era n’olw’okutegeeza kwa Yesu”? (Okubikkulirwa 1:9) Yagumiikiriza era n’atuukiriza okwewaayo kwe ng’Omukristaayo okumala emyaka nga 60. Yaliwo ne mu kiseera ng’amagye g’Abaruumi gamaze okuzikiriza Yerusaalemi. Yalina enkizo okuwandiika Enjiri, amabaluwa asatu agaluŋŋamizibwa, n’ekitabo ky’Okubikkulirwa, mwe yayolesebwa olutalo lwa Kalumagedoni. Yalekulira bwe yamanya nti Kalumagedoni teyali ya kujja mu kiseera ky’obulamu bwe? Yatandika obuteefiirayo? Nedda, Yokaana yasigala nga mwesigwa okutuusa okufa kwe, ng’amanyi nti wadde ‘ekiseera ekigereke kyali kumpi,’ okutuukirizibwa kw’okwolesebwa kwe yafuna kwali kwa mu kiseera eky’omu maaso.​—Okubikkulirwa 1:3; Danyeri 12:4.

Ebyokulabirako eby’Omu Kiseera Kino eby’Okwewaayo

7. Ow’oluganda omu yali atya ekyokulabirako ekirungi eky’okwewaayo okw’Ekikristaayo?

7 Mu biseera byaffe, enkumi n’enkumi z’Abakristaayo abeesigwa banyweredde ku kwewaayo kwabwe wadde nga tebandibaddewo okulaba Kalumagedoni. Omu kw’abo ye Ernest E. Beavor okuva mu Bungereza. Yafuuka Omujulirwa mu 1939 ku ntandikwa ya Ssematalo II, era yaleka bizinesi ye ey’okukuba ebifaananyi mu kyapa okusobola okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Olw’okuba teyalina ludda lwe yekubiddeko ng’Omukristaayo, yasibibwa mu kkomera okumala emyaka ebiri. Ab’omu maka ge baamuwagira, era mu 1950 ye n’abaana be basatu baagenda mu Ssomero lya Watchtower Erya Baibuli ery’e Gireyaadi ery’okutendeka abaminsani, mu New York. Ow’Oluganda Beavor yali munyiikivu mu mulimu gwe ogw’okubuulira, mikwano gye ne batuuka n’okumuyita Kalumagedoni Ernie. N’obwesigwa yatuukiriza okwewaayo kwe, era okutuukira ddala bwe yafa mu 1986, yalangirira nti olutalo lwa Katonda olwa Kalumagedoni lwali luli kumpi kutuuka. Okwewaayo kwe teyakutwala ng’endagaano ey’ekiseera obuseera ne Katonda!b​—1 Abakkolinso 15:58.

8, 9. (a) Kyakulabirako ki ekyateekebwawo abavubuka bangi mu Spain mu bufuzi bwa Franco? (b) Bibuuzo ki ebisaanira?

8 Ekyokulabirako ekirala eky’obunyiikivu obw’amaanyi kiva mu Spain. Mu bufuzi bwa Franco (1939-75), ebikumi n’ebikumi by’Abajulirwa abato abeewaddeyo baanywerera ku nnyimirira yaabwe ey’obutabaako ludda lwe beekubiddeko ng’Abakristaayo. Bangi ku bo baamala emyaka kkumi n’okusingawo mu makomera g’abamaggye. Omujulirwa omu, ayitibwa Jesús Martín, yasalirwa emisango egy’okusibibwa mu kkomera emyaka 22. Yakubibwa nnyo ng’ali mu kkomera ly’abamagye mu Bukiika Kkono bwa Afirika. Tewali na kimu ku bino ekyali ekyangu, naye yagaana okwekkiriranya.

9 Ebiseera ebisinga obungi, abavubuka bano baali tebamanyi n’akamu obanga balisumululwa, kubanga baasalirwanga emisango egy’omuddiriŋŋanwa. Kyokka, baakuuma obugolokofu bwabwe era ne basigala nga banyiikivu mu buweereza wadde nga baali basibe. Embeera bwe yatandika okulongooka mu 1973, bangi ku Bajulirwa bano, mu kiseera ekyo abali batemera mu myaka 30, baasumululwa okuva mu kkomera era ne bayingira butereevu mu buweereza obw’ekiseera kyonna, abamu ne bafuuka bapayoniya ab’enjawulo n’abalabirizi abatambula. Baatuukiriza okwewaayo kwabwe mu kkomera, era abasinga obungi beeyongedde okukola ekyo okuva lwe baasumululwa.c Kiri kitya gye tuli leero? Tuli beesigwa eri okwewaayo kwaffe ng’abeesigwa bano?​—Abaebbulaniya 10:32-34; 13:3.

Endowooza Entuufu ku Kwewaayo Kwaffe

10. (a) Twanditunuulidde tutya okwewaayo kwaffe? (b) Yakuwa atunuulira atya obuweereza bwaffe gyali?

10 Tulina ndowooza ki ku kwewaayo kwaffe eri Katonda okukola by’ayagala? Kye kintu ekisooka mu bulamu bwaffe? Ka tubeere mu mbeera ki, bato oba bakulu, bafumbo oba abali obwannamunigina, balamu oba balwadde, tusaanidde okufuba okutuukiriza okwewaayo kwaffe, ng’embeera zaffe bwe zitusobozesa. Embeera y’omuntu omu eyinza okumusobozesa okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna nga payoniya, nga nnakyewa ku ofiisi y’ettabi lya Watch Tower Society, ng’omuminsani, oba omulabirizi atambula. Ku luuyi olulala, abazadde abamu bayinza okuba beemalidde ku kukola ku byetaago by’ab’omu maka gaabwe eby’omubiri n’eby’omwoyo. Essaawa entono ze bamala mu buweereza buli mwezi za muwendo mutono mu maaso ga Yakuwa okusinga essaawa ennyingi omuweereza ow’ekiseera kyonna zaawaayo? Nedda. Katonda tatusuubiramu kye tutalina. Omutume Pawulo yawa omusingi guno: “Oba nga waliwo okwagala amangu, kukkirizibwa ng’omuntu bw’alina, si nga bw’atalina.”​—2 Abakkolinso 8:12.

11. Obulokozi bwaffe bwesigamye ku ki?

11 Mu buli ngeri, obulokozi bwaffe bwesigamye, si ku kintu kyonna kye tuyinza okukola, naye ku kisa kya Yakuwa ekitatusaanira okuyitira mu Kristo Yesu, Mukama waffe. Pawulo yannyonnyola bulungi: “Bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda; naye baweebwa obutuukirivu bwa buwa lwa kisa kye olw’okununulibwa okuli mu Kristo Yesu.” Kyokka, ebikolwa byaffe bukakafu obw’okukkiriza kwaffe mu bisuubizo bya Katonda.​—Abaruumi 3:23, 24; Yakobo 2:17, 18, 24.

12. Lwaki tetwandyegeraageranyiza n’abalala?

12 Tekitwetaagisa kugeraageranya n’abalala ebiseera bye tumala mu buweereza bwa Katonda, ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli bye tugaba, oba Abayizi ba Baibuli be tulina. (Abaggalatiya 6:3, 4) Ka tube nga tutuukiriza ki mu buweereza bw’Ekikristaayo, ffenna tulina okujjukira ebigambo bya Yesu: “Era nammwe bwe mutyo, bwe mumalanga okukola byonna bye mwalagirwa, mugambenga nti Ffe tuli baddu abatasaana; ebyatugwanira okukola bye tukoze.” (Lukka 17:10) Mazima ddala mirundi emeka bwe tuyinza okugamba nti tukoze ‘byonna bye twalagirwa’? N’olwekyo, ekibuuzo kiri, Omutindo gw’obuweereza bwaffe eri Katonda gwandibadde gutya?​—2 Abakkolinso 10:17, 18.

Okufuula Buli Lunaku olw’Omuwendo

13. Ndowooza ki gye twetaaga nga tutuukiriza okwewaayo kwaffe?

13 Oluvannyuma lw’okubuulirira abakyala, abaami, abazadde n’abaddu, Pawulo awandiika: “Buli kye mukola kyonna, mukikolenga n’emmeeme yammwe yonna, nga ku bwa Yakuwa, so si ku bwa bantu, kubanga mumanyi nga mulisasulibwa Yakuwa empeera ey’obusika. Muli baddu ba Mukama waffe, Kristo.” (Abakkolosaayi 3:23, 24, NW) Tetuweereza nga twagala okuwuniikiriza abantu olw’ekyo kye tutuuseeko mu buweereza bwa Yakuwa. Tugezaako okuweereza Katonda nga tugoberera ekyokulabirako kya Yesu Kristo. Yatuukiriza obuweereza bwe obw’ekiseera ekitono ng’amanyi obukulu bw’ekiseera kye yalimu.​—1 Peetero 2:21.

14. Kulabula ki Peetero kwe yawa ku bikwata ku nnaku ez’enkomerero?

14 Omutume Peetero naye yalaga nti yali amanyi obukulu bw’ekiseera kye yalimu. Mu bbaluwa ye ey’okubiri, yalabula nti mu nnaku ez’oluvannyuma, wandibaddewo abasekerezi​—bakyewaggula n’ababuusabuusa​—ng’okusinziira ku biruubirirwa ebyabwe ku bwabwe, bandibuuzizza ebibuuzo ebikwata ku kubeerawo kwa Kristo. Kyokka, Peetero yagamba: ‘Yakuwa talwisa kye yasuubiza, ng’abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya. Naye olunaku lwa Yakuwa lulijja nga mubbi.’ Yee, olunaku lwa Yakuwa lukakafu okujja. N’olwekyo, twandifuddengayo buli lunaku okulaba obanga ddala okukkiriza kwaffe mu kisuubizo kya Katonda kunywevu.​—2 Peetero 3:3, 4, 9, 10.

15. Twanditunuulidde tutya buli lunaku mu bulamu bwaffe?

15 Okusobola okutuukiriza okwewaayo kwaffe, tusaanidde okukozesa buli lunaku okutendereza Yakuwa. Ku buli nkomerero ya lunaku, tuyinza okulutunuulira ne tulaba oba nga tutukuzizza erinnya lya Katonda n’okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka? Oboolyawo twakikoze okuyitira mu nneeyisa yaffe ennyonjo, emboozi ezimba, oba okufaayo ku b’omu maka gaffe ne mikwano gyaffe mu ngeri y’okwagala. Twakozesezza emikisa egyabaddewo okubuulira abalala essuubi lyaffe ery’Ekikristaayo? Tuyambyeyo omuntu okulowooza ennyo ku bisuubizo bya Katonda? Ka tubeeko ekirungi kye tukola mu by’omwoyo buli lunaku, nga tweterekera eby’obugagga eby’eby’omwoyo.​—Matayo 6:20; 1 Peetero 2:12; 3:15; Yakobo 3:13.

Kuuma Endaba Yo nga Nnuŋŋamu

16. Mu ngeri ki Setaani gy’agezaako okunafuya okwewaayo kwaffe eri Katonda?

16 Tuli mu biseera ebyeyongera okuzibuwalira Abakristaayo. Setaani ne b’akozesa babuzaabuza enjawulo eriwo wakati w’ekirungi n’ekibi, ekiyonjo n’ekitali kiyonjo, empisa ennungi n’embi. (Abaruumi 1:24-28; 16:17-19) Akifudde kyangu emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe okwonoonebwa okuyitira mu kulaba ttivi oba ku kompyuta. Endaba yaffe ey’eby’omwoyo eyinza okwonooneka, ne tulemererwa okutegeera ebikolwa bye eby’obukalabakalaba. Obumalirivu bwaffe okutuukiriza okwewaayo kwaffe buyinza okunafuwa singa twekkiriranya eri emitindo gyaffe egy’eby’omwoyo.​—Lukka 9:62; Abafiripi 4:8.

17. Okubuulirira kwa Pawulo kuyinza kutya okutuyamba okukuuma enkolagana yaffe ne Katonda?

17 N’olwekyo, ebigambo bya Pawulo eri ekibiina ky’e Ssessaloniika bituukirawo bulungi: “Kubanga ekyo Katonda ky’ayagala, okutukuzibwa kwammwe, okwewalanga obwenzi; buli muntu ku mmwe okumanyanga okufuga omubiri gwe ye mu butukuvu n’ekitiibwa, si mu mululu ogw’okwegomba, era ng’amawanga agatamanyi Katonda.” (1 Abasessaloniika 4:3-5) Obugwenyufu buviiriddeko abamu abalagajjalira okwewaayo kwabwe eri Katonda​—okugobebwa mu kibiina Ekikristaayo. Bakkiriza enkolagana yaabwe ne Katonda okunafuwa, n’aba nga takyali mukulu mu bulamu bwabwe. Kyokka, Pawulo yagamba: “Katonda teyatuyitira bugwagwa, wabula mu butukuvu. Kale agaana tagaana muntu, wabula Katonda, abawa [o] mwoyo gwe [o] mutukuvu.”​—1 Abasessaloniika 4:7, 8.

Omaliridde Kukola Ki?

18. Twandimaliridde kukola ki?

18 Singa tutegeera obukulu bw’okwewaayo kwaffe eri Yakuwa Katonda, twandibadde bamalirivu kukola ki? Twandibadde bamalirivu okubeera n’omuntu ow’omunda omulungi ku bikwata ku nneeyisa yaffe n’obuweereza bwaffe. Peetero yakubiriza: “Nga mulina omwoyo omulungi [“omuntu ow’omunda omulungi,” NW]; olw’ebyo bye baboogerako obubi, balyoke bakwatibwenga ensonyi abavuma empisa zammwe ennungi ez’omu Kristo.” (1 Peetero 3:16) Tuyinza okubonaabona oba okuvumibwa olw’empisa zaffe ez’Ekikristaayo, naye era bwe kyali eri Kristo olw’okukkiriza kwe n’obwesigwa eri Katonda. “Kale,” bw’atyo Peetero bwe yagamba, ‘kubanga Kristo yabonyaabonyezebwa mu mubiri, nammwe mwambalenga ebyokulwanyisa gwe mwoyo ogwo; kubanga abonyaabonyezebwa mu mubiri aba amaze okuleka ebibi.’​—1 Peetero 4:1.

19. Kiki kye twagala batwogereko?

19 Mazima ddala, obumalirivu bwaffe okutuukiriza okwewaayo kwaffe kujja kutukuuma okuva mu mitego gy’ensi ya Setaani endwadde mu by’omwoyo ne mu mpisa. Naye okusingawo ne ku ekyo, tujja kufuna obugumu nti tusiimibwa Katonda, ekisingira ewala ekintu kyonna Setaani ne b’akozesa bye bayinza okutuwa. Bwe kityo, tetukkirizanga okwogerwako nti tulese okwagala kwe twalina lwe twasooka okumanya amazima. Wabula, ka batwogereko nga bwe baayogera ku abo ab’omu kibiina ky’e Suwatira eky’omu kyasa ekyasooka: “Mmanyi ebikolwa byo n’okwagala n’okukkiriza n’okuweereza n’okugumiikiriza kwo, n’ebikolwa byo eby’oluvannyuma nga bingi okusinga eby’olubereberye.” (Okubikkulirwa 2:4, 18, 19) Yee, tuleme kuwola ku bikwata ku kwewaayo kwaffe, naye ‘tujjule omwoyo,’ nga tuli banyiikivu okutuukira ddala ku nkomerero​—era enkomerero eri kumpi.​—Abaruumi 12:11, NW; Okubikkulirwa 3:15, 16.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba The Watchtower, aka Apuli 15, 1987, olupapula 31.

b Laba The Watchtower aka Maaki 15, 1980, empapula 8-11, okumanya ebikwata ku bulamu bwa Ernest Beavor.

c Laba 1978 Yearbook of Jehovah’s Witnesses, empapula 156-8, 201-18, kyakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.

Ojjukira?

• Okwewaayo kuzingiramu ki?

• Byakulabirako ki eby’edda n’eby’omu kiseera kyaffe eby’abaweereza ba Katonda abeewaayo ebisaanidde okukoppebwa?

• Twanditunuulidde tutya obuweereza bwaffe eri Katonda?

• Twandibadde bamalirivu kukola ki ku bikwata ku kwewaayo kwaffe eri Katonda?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Yeremiya yasigala mwesigwa wadde nga yayisibwa bubi nnyo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Ernest Beavor yateerawo abaana be ekyokulabirako eky’Omukristaayo omunyiikivu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Ebikumi n’ebikumi by’Abajulirwa abato mu makomera g’omu Spain baakuuma obwesige bwabwe

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 27]

Ka tubeeko ekintu ekirungi eky’eby’omwoyo kye tukola buli lunaku

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share