LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Eby’Abaleevi 21
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Bakabona balina okuba abatukuvu era nga balongoofu (1-9)

      • Kabona omukulu talina kweyonoona (10-15)

      • Bakabona tebalina kubaako bulemu (16-24)

Eby’Abaleevi 21:1

Marginal References

  • +Kbl 19:14

Eby’Abaleevi 21:5

Marginal References

  • +Ma 14:1
  • +Lev 19:27, 28

Eby’Abaleevi 21:6

Footnotes

  • *

    Oba, “emmere,” kitegeeza ssaddaaka.

Marginal References

  • +Kuv 29:44
  • +Lev 18:21; 19:12; 22:32
  • +Is 52:11; 1Pe 1:15, 16

Eby’Abaleevi 21:7

Marginal References

  • +Lev 19:29
  • +Ma 24:1; Ezk 44:22

Eby’Abaleevi 21:8

Marginal References

  • +Kuv 28:41
  • +Kuv 28:36; Lev 11:45; 20:7, 8

Eby’Abaleevi 21:9

Marginal References

  • +Lev 20:14

Eby’Abaleevi 21:10

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Kuv 29:7.

  • *

    Obut., “omukono gwe ne gujjuzibwa.”

Marginal References

  • +Lev 8:12
  • +Kuv 28:2; 29:29; Lev 16:32
  • +Lub 37:34; Lev 10:6

Eby’Abaleevi 21:11

Marginal References

  • +Kbl 6:7; 19:11, 14

Eby’Abaleevi 21:12

Marginal References

  • +Lev 10:7
  • +Lev 8:12

Eby’Abaleevi 21:13

Marginal References

  • +Ezk 44:22

Eby’Abaleevi 21:15

Marginal References

  • +Ezr 9:2

Eby’Abaleevi 21:20

Marginal References

  • +Ma 23:1

Eby’Abaleevi 21:22

Marginal References

  • +Lev 2:10; 6:14, 16; 24:8, 9; Kbl 18:9
  • +Lev 22:10; Kbl 18:19

Eby’Abaleevi 21:23

Marginal References

  • +Kuv 30:6
  • +Kuv 38:1
  • +Kuv 25:8
  • +Kuv 28:41

General

Leev. 21:1Kbl 19:14
Leev. 21:5Ma 14:1
Leev. 21:5Lev 19:27, 28
Leev. 21:6Kuv 29:44
Leev. 21:6Lev 18:21; 19:12; 22:32
Leev. 21:6Is 52:11; 1Pe 1:15, 16
Leev. 21:7Lev 19:29
Leev. 21:7Ma 24:1; Ezk 44:22
Leev. 21:8Kuv 28:41
Leev. 21:8Kuv 28:36; Lev 11:45; 20:7, 8
Leev. 21:9Lev 20:14
Leev. 21:10Lev 8:12
Leev. 21:10Kuv 28:2; 29:29; Lev 16:32
Leev. 21:10Lub 37:34; Lev 10:6
Leev. 21:11Kbl 6:7; 19:11, 14
Leev. 21:12Lev 10:7
Leev. 21:12Lev 8:12
Leev. 21:13Ezk 44:22
Leev. 21:15Ezr 9:2
Leev. 21:20Ma 23:1
Leev. 21:22Lev 2:10; 6:14, 16; 24:8, 9; Kbl 18:9
Leev. 21:22Lev 22:10; Kbl 18:19
Leev. 21:23Kuv 30:6
Leev. 21:23Kuv 38:1
Leev. 21:23Kuv 25:8
Leev. 21:23Kuv 28:41
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Eby’Abaleevi 21:1-24

Eby’Abaleevi

21 Yakuwa era n’agamba Musa nti: “Yogera ne bakabona, batabani ba Alooni, obagambe nti, ‘Tewabangawo kabona yenna eyeefuula atali mulongoofu olw’omuntu afudde mu bantu be.+ 2 Naye ayinza okukikola olw’oyo amulinako oluganda olw’okumpi: nnyina, kitaawe, mutabani we, muwala we, muganda we; 3 era ayinza okukikola olwa mwannyina embeerera atannafumbirwa, alina enkolagana ey’oku lusegere naye. 4 Teyeefuulanga atali mulongoofu era teyeeyonoonanga olwa muka musajja ow’omu bantu be. 5 Tebamwangako nviiri za ku mitwe gyabwe,+ wadde okukomolanga ebirevu byabwe, era tebeesalanga misale ku mibiri gyabwe.+ 6 Banaabanga batukuvu eri Katonda waabwe,+ era tebavvoolanga linnya lya Katonda waabwe,+ kubanga bawaayo ebiweebwayo bya Yakuwa ebyokebwa n’omuliro, omugaati* gwa Katonda waabwe, era banaabanga batukuvu.+ 7 Tebawasanga malaaya+ oba omukazi atakyali mbeerera, oba omukazi eyagattululwa ne bba,+ kubanga kabona mutukuvu eri Katonda we. 8 Omutukuzanga,+ kubanga y’awaayo omugaati gwa Katonda wo. Anaabanga mutukuvu gy’oli, kubanga nze Yakuwa abatukuza ndi mutukuvu.+

9 “‘Muwala wa kabona bwe yeeyonoonanga ng’akola obwamalaaya, aba aweebuula kitaawe. Ayokebwanga omuliro.+

10 “‘Kabona asinga obukulu mu baganda be anaafukibwangako amafuta amatukuvu* ku mutwe gwe+ era n’atongozebwa* okwambala ebyambalo by’obwakabona,+ anaafangayo ku nviiri ze, era tayuzanga byambalo bye.+ 11 Tasembereranga mulambo gwa muntu yenna.+ Teyeefuulanga atali mulongoofu olwa kitaawe wadde olwa nnyina. 12 Tavanga mu kifo ekitukuvu era tatyoboolanga ekifo kya Katonda we ekitukuvu,+ kubanga aliko akabonero ak’okwewaayo, kwe kugamba, amafuta amatukuvu aga Katonda.+ Nze Yakuwa.

13 “‘Omukazi gw’anaawasanga anaabanga mbeerera.+ 14 Tawasanga nnamwandu, omukazi eyagattululwa ne bba, oyo atakyali mbeerera, oba malaaya. Naye awasanga omukazi embeerera okuva mu bantu be. 15 Taswazanga abaana be mu bantu be,+ kubanga nze Yakuwa amutukuza.’”

16 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 17 “Gamba Alooni nti, ‘Omuntu yenna mu zzadde lyo mu mirembe gyabwe gyonna eginaddawo anaabangako obulemu, tasemberanga okuwaayo omugaati gwa Katonda we. 18 Omusajja yenna aliko obulemu, tasemberanga okuguwaayo: omuzibe w’amaaso, omulema, aliko obulemu mu maaso, alina amagulu oba emikono egitenkanankana, 19 eyamenyeka ekigere oba omukono, 20 ow’ebbango oba nnakampi, oba alina amaaso amalwadde oba ekiyobyo oba oluwumu oba eyayatika enjagi.+ 21 Omusajja yenna aliko obulemu ow’omu zzadde lya Alooni kabona, tasemberanga okuwaayo ekiweebwayo kya Yakuwa ekyokebwa n’omuliro. Olw’okuba aliko obulemu, tasemberanga okuwaayo omugaati gwa Katonda we. 22 Asobola okulya ku mugaati gwa Katonda we, kwe kugamba, ebintu ebitukuvu ennyo+ n’ebintu ebitukuvu.+ 23 Naye tagendanga okumpi n’olutimbe,+ era tasembereranga ekyoto,+ kubanga aliko obulemu; era tatyoboolanga ekifo kyange ekitukuvu,+ kubanga nze Yakuwa abatukuza.’”+

24 Awo Musa n’ayogera ne Alooni ne batabani be n’Abayisirayiri bonna.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share