Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Ddes. 15
“Mu kiseera kino, bangi balowooza ku mazaalibwa ga Yesu. Obadde okimanyi nti waliwo ebintu ebikulu bye tuyinza okuyiga okuva mu Baibuli ebikwata ku kuzaalibwa kwe? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma mutwale ku lupapula 5 era osome 2 Timoseewo 3:16.] Magazini eno eyogera ku bimu ku by’okuyiga ebyo.”
Awake! Ddes. 22
“Olowooza abazadde bandibadde bafaayo ku ngeri eby’okwesanyusaamu ebyoleka ebikolwa eby’obukambwe gye biyinza okukosaamu abaana baabwe? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abazadde bangi bafuna obulagirizi okuva mu kyawandiikibwa kino. [Soma Zabbuli 11:5.] Magazini eno eyamba ab’omu maka okwekenneenya akabi akali mu mizannyo egimu egiri ku kompyuta.”
The Watchtower Jjan. 1
“Abantu bwe bafiirwa omwagalwa waabwe oba bwe balwala, batera okwebuuza, ‘Lwaki Katonda akkirizza kino okututuukako?’ Oboolyawo wali weebuuzizzaako ekibuuzo kye kimu. Baibuli eraga nti Katonda asaasira abo ababonaabona. [Soma Isaaya 63:9.] Magazini eno ennyonnyola ensonga lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Katonda ajja kuggyawo okubonaabona.”
Awake! Jjan. 8
“Olowooza gavumenti yandiggyewo eddembe ly’okwogera ku bintu ebimu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Kiba kitya singa kiba kikwata ku kwogera n’abalala ku ddiini, nga bwe tusoma wano? [Soma Ebikolwa 28:30, 31.] Gye buvuddeko awo ensonga eyo yeekenneenyezebwa mu Kkooti Enkulu eya Amerika. Oyinza okukisomako mu magazini eno.”