Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Des. 15
“Mu kiseera kino eky’omwaka, abantu bangi balowooza ku mazaalibwa ga Yesu. Waali weebuuzizzaako maka ga ngeri ki ge yakuliramu? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Lukka 2:51, 52.] Magazini eno eya Watchtower eyogera ku bye tuyinza okuyigira ku ebyo Baibuli by’eyogera ku ngeri Yesu gye yakuzibwamu.”
Awake! Des 22
“Ffenna twagala nnyo okulaba abaana baffe nga basanyufu era nga balina obulamu obulungi. Olowooza kiki abaana kye beetaaga ennyo okusobola okwaŋŋanga embeera enzibu eriwo mu nsi? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Engero 22:6.] Magazini eno eya Awake! ennyonnyola ekyo abaana kye beetaaga era n’engeri abazadde gye bayinza okukola ku byetaago byabwe.”
The Watchtower Jan. 1
“Abantu bangi beegomba nnyo emirembe okubaawo ku nsi. Olowooza ebigambo bino birituukirizibwa? [Soma Zabbuli 46:9. Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eya Watchtower ennyonnyola engeri kino gye kirituukirizibwamu era n’ewa n’ensonga lwaki twandikakasizza ekisuubizo kya Katonda eky’ensi omutali ntalo.”
Awake! Jan 8
“Okwetooloola ensi, abantu bukadde na bukadde bennyamivu nnyo. Omutonzi waffe afaayo nnyo ku balinga abo. [Soma Zabbuli 34:18.] Magazini eno ennyonnyola engeri abennyamivu gye bayinza okuyambibwamu. Era eyogera ku kisuubizo kya Baibuli nti mangu ddala obulwadde bwonna bujja kuggwaawo.”