Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Mak. 15
“Olowooza enjigiriza za Yesu za muganyulo mu kiseera kyaffe? [Muleke abeeko ky’addamu.] Awatali kubuusabuusa ojja kukkiriziganya n’ekiragiro kino Yesu kye yawa ku lunaku olwasembayo mu bulamu bwe. [Soma Yokaana 15:12.] Era Yesu yayigiriza n’ensonga endala enkulu ku lunaku olwo. Watchtower eno eraga engeri gye tuyinza okuziganyulwamu.”
Awake! Mak. 22
“Weetegerezza nti ennaku zino abantu bangi bakisanga nga kizibu okufuna otulo otumala? [Muleke abeeko ky’addamu.] Okweraliikirira kusobola okuviirako ekyo. [Soma Omubuulizi 5:12.] Magazini eno yeekenneenya ebintu ebimu ebiviirako abantu obuteebaka, era ewa n’amagezi ku ngeri gye tuyinza okuvvuunukamu ekizibu kino.”
The Watchtower Apu. 1
“Eddiba lino liraga ekijjulo ekiyitibwa Eky’Ekiro Ekyasembayo. [Laga kungulu n’emabega wa magazini.] Obadde okimanyi nti guno gwe mukolo gwokka Abakristaayo gwe balagirwa okujjukira? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Lukka 22:19.] Magazini eno ennyonnyola lwaki omukolo guno mukulu nnyo era n’engeri gy’okwatibwako.”
Awake! Apu. 8
“Si kya nnaku okuba nti abavubuka bangi boonooneddwa enjaga? [Muleke abeeko ky’addamu.] Emirundi mingi ebizibu bitandika ng’abavubuka bakolagana n’abantu abakyamu. [Soma 1 Abakkolinso 15:33.] Awake! eno yeekenneenya ekiviirako abavubuka okukozesa enjaga era n’abazadde kye bayinza okukola okubayamba.”