Ekigambo kya Katonda ge Mazima
1. Bikulu ki ebitutegeezebwa mu Baibuli?
1 Omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika: “Ekigambo kyo kyonna kyonna mazima.” (Zab. 119:160) Okuyitira mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa, Yakuwa atuwa eby’okuddamu ebimatiza ku bibuuzo ebikulu ebikwata ku bulamu. Abudaabuda era awa essuubi abo abali mu mbeera enzibu. Era atulaga engeri gye tuyinza okufunamu enkolagana ennungi naye. Omukyala omu eyalaga okusiima, yagamba: “Okuyiga amazima ag’omu Baibuli kiri ng’okuva mu kifo ekikutte ekizikiza eky’amaanyi n’oyingira mu kisenge ekitangaala obulungi.” Ofuba okukozesa buli kakisa k’ofuna okubuulira abalala amazima agava mu Kigambo kya Katonda?
2. Baibuli erongoosa etya obulamu bw’abantu?
2 Kirina Amaanyi Agakyusa era Agasikiriza Abantu Okwetooloola Ensi Yonna: Amazima g’omu Baibuli galina amaanyi okukwata ku mitima gy’abantu n’okukyusa obulamu bwabwe. (Beb. 4:12) Omukyala ayitibwa Rosa yali atandise okwenyigira mu bwa malaaya nga kw’atadde n’okwekamirira omwenge n’enjaga. Agamba: “Lumu bwe nnali nga nnenyamidde nnyo, omugogo gw’Abajulirwa gwambuulira engeri Baibuli gy’eyinza okutuyamba okugonjoola ebizibu byaffe. Nnatandika okuyiga Ekigambo kya Katonda era ne kinnyumira nnyo. Mu mwezi gumu nnali nfunye obuvumu okutandika obulamu obuppya era obulungi. Kati, olw’okuba nnali nfunye ekigendererwa mu bulamu, nnali sikyetaaga kukozesa mwenge wadde enjaga. Era olw’okuba nnali njagala nnyo okuba mukwano gwa Yakuwa, nnali mumalirivu okutambuliza obulamu bwange ku misingi gye. Singa tegaali magezi ge nnafuna okuva mu Kigambo kya Katonda, nandibadde nnetta dda.”—Zab. 119:92.
3. Lwaki tetwanditidde kubuulira balala bubaka obuva mu Baibuli?
3 Okwawukana ku bitabo ebisinga obungi leero, Baibuli esikiriza abantu okuva mu ‘mawanga gonna, ebika, n’ennimi.’ (Kub. 7:9) Katonda ayagala “abantu bonna okulokoka, era okutuuka ku kutegeerera ddala amazima.” (1 Tim. 2:4) N’olwekyo, tetwandirowoozezza nti omuntu tayinza kukkiriza mawulire malungi olw’embeera gy’alimu. Okwawukana ku ekyo, buulira abantu bonna obubaka bw’Obwakabaka ng’okozesa Baibuli butereevu buli we kisoboka.
4. Tuyinza tutya okukozesa Baibuli nga tuwa obujulirwa?
4 Ggumiza Ebyawandiikibwa: Waliwo emikisa mingi gye tuyinza okweyambisa okukozesa Baibuli nga tuli mu buweereza. Ng’ogaba magazini, fuba okukozesa ekyawandiikibwa ekiri mu nnyanjula ekuweereddwa. Nga bakozesa ebitabo ebirina okugabibwa mu mwezi ogwo, abamu bakisanga nga kya muganyulo okukozesa mu nnyanjula zaabwe ekyawandiikibwa kye balonze n’obwegendereza. Buli lw’oddamu okukyalira omuntu, mukubaganye ebirowoozo ku kyawandiikibwa kimu oba bibiri kisobole okumuyamba okweyongera okufuna okumanya okutuufu. Ng’oyigiriza omuyizi wa Baibuli, byonna by’oyogera byesigamye ku byawandiikibwa ebikulu. Ne bw’oba nga toli mu nnimiro, beera mwetegefu okukozesa Baibuli yo okubuulira embagirawo bwe wabaawo akakisa.—2 Tim. 2:15.
5. Lwaki twandikozesezza Baibuli mu buweereza bwaffe?
5 Ka tuyambe abalala okuganyulwa mu maanyi g’Ekigambo kya Katonda eky’amazima, nga tukozesa Baibuli buli lwe tufuna akakisa nga tuli mu buweereza bwaffe.—1 Bas. 2:13.