Okukola Omukwano ogw’Oku Lusegere ne Yakuwa
1. Mwannyinaffe yeetegereza ki ku bikwata ku nteekateeka ye ey’ebyomwoyo?
1 Mwannyinaffe omu Omukristaayo agamba: “Emyaka egisukka mu 20 gye mbadde mu mazima, mbadde ŋŋenda bugenzi mu nkuŋŋaana era nga nneenyigira mu buweereza bw’ennimiro okutuusa obutuusa omukolo.” Yeeyongera okugamba: “Nkitegedde nti wadde ng’ebintu bino bikulu, ku bwabyo tebiyinza kunnyamba embeera bw’ezibuwala. . . . Kati nkitegeera nti nnina okukyusa endowooza yange ntandike okusoma Baibuli mu ngeri ey’amakulu nsobole okumanya Yakuwa ekisingawo era ntandike okumwagala n’okusiima Omwana we by’atukoledde.”
2. Lwaki kikulu okukola omukwano ogw’oku lusegere ne Yakuwa?
2 Okukola omukwano ogw’oku lusegere ne Yakuwa kyetaagisa okufuba. Kisingawo ku kugoberera obugoberezi enteekateeka ey’emirimu egy’Ekikristaayo. Singa tulemererwa okusaba Yakuwa obutayosa, ddaaki ayinza okufuuka ng’omuntu eyaliko mukwano gwaffe gwe tumaze ekiseera nga tetukyawuliziganya. (Kub. 2:4) Ka twekenneenye engeri okwesomesa Baibuli n’okusaba gye biyinza okutuyamba okukola omukwano ogw’oku lusegere ne Yakuwa.—Zab. 25:14.
3. Ngeri ki ey’okwesomesa eneetuyamba okukola omukwano ogw’oku lusegere ne Katonda?
3 Okusaba n’Okufumiitiriza Bikulu Nnyo: Okusoma okw’amakulu kusingawo ku kusaza obusaza ku nsonga enkulu n’okukebera ebyawandiikibwa ebiba bijuliziddwa. Kitwetaagisa okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma ebikwata ku makubo ga Yakuwa, emitindo gye n’engeri ze. (Kuv. 33:13) Bwe tutandika okutegeera ebintu eby’omwoyo enneewulira yaffe ekwatibwako era kituleetera okulowooza ku bulamu bwaffe. (Zab. 119:35, 111) Tusaanidde okwesomesa nga tulina ekigendererwa eky’okukola omukwano ne Yakuwa. (Yak. 4:8) Okwesomesa mu ngeri ey’amakulu kyetaagisa ekiseera n’embeera esaanira, era okusobola okusoma obutayosa kyetaagisa okwefuga. (Dan. 6:10) Wadde ng’olina eby’okukola bingi, owaayo ekiseera buli lunaku okufumiitiriza ku ngeri za Yakuwa ez’ekitalo?—Zab. 119:147, 148; 143:5.
4. Okusaba nga tugenda okwesomesa kituyamba kitya okukola omukwano ogw’oku lusegere ne Yakuwa?
4 Okusaba mu bwesimbu kikulu nnyo mu kwesomesa okw’amakulu. Amazima ga Baibuli okusobola okutuuka ku mitima gyaffe era ne gatukubiriza ‘okuweereza Katonda n’okutya,’ twetaaga omwoyo gwe omutukuvu. (Beb. 12:28) N’olwekyo, buli lwe tuba tugenda okwesomesa tulina okutandika nga tusaba Yakuwa okutuwa omwoyo gwe. (Mat. 5:3) Bwe tufumiitiriza ku Byawandiikibwa era ne tukozesa ebitabo ebituweereddwa ekibiina kya Yakuwa, tuba tugulawo emitima gyaffe eri Yakuwa. (Zab. 62:8) Okwesomesa mu ngeri eno, ngeri emu ey’okusinza mwe twolekera okwagala kwaffe eri Yakuwa era ne tunyweza omukwano gwaffe naye.—Yuda 20, 21.
5. Lwaki twandikitutte nga kikulu okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda buli lunaku?
5 Nga bwe kiri mu mikwano gyonna, tulina okufuba okulaba nti omukwano gwaffe ne Yakuwa gweyongera okukula mu bulamu bwaffe bwonna. N’olwekyo, ka twegulire ebiseera buli lunaku okusobola okukola omukwano ne Katonda nga tumanyi nti naye ajja kubeera mukwano gwaffe.—Zab. 1:2, 3; Bef. 5:15, 16.