OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ganyulwa mu Kwesomesa
LWAKI KIKULU: Okwesomesa kutuyamba “okutegeerera ddala obugazi, obuwanvu, obugulumivu, n’obuziba” bw’amazima. (Bef 3:18) Ate era kutuyamba okusigala nga tetuliiko kya kunenyezebwa oba kamogo mu nsi eno embi era ‘n’okunywerera ku kigambo eky’obulamu.’ (Baf 2:15, 16) Okwesomesa kutusobozesa okulonda ebintu eby’okusoma ebitukwatako kinnoomu. Tuyinza tutya okuganyulwa mu bujjuvu mu kusoma Bayibuli n’okwesomesa?
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Saza ku nnyiriri era obeeko by’owandiika mu Bayibuli gy’okozesa okwesomesa, k’ebeere nga ya mpapula oba ng’eri ku ssimu
Bw’oba osoma Ekigambo kya Katonda weebuuze ebibuuzo bino: ‘Ani? Kiki? Ddi? Wa? Lwaki? Mu ngeri ki?’
Noonyereza. Ng’okozesa ebintu bye tukozesa okunoonyereza, noonyereza ku nsonga gy’osomako oba ku lunyiriri lw’osomye
Fumiitiriza ku ebyo by’osomye olabe engeri gye bikukwatako
By’oyize bikolereko mu bulamu bwo.—Luk 6:47, 48
MULABE VIDIYO, “NYWERERA KU KIGAMBO”—NGA WEESOMESA BULUNGI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Ab’oluganda abamu baganyuddwa batya mu kwesomesa?
Lwaki tusaanidde okusooka okusaba nga tetunneesomesa?
Kiki ekisobola okutuyamba okutegeera obulungi bye tuba tusomye?
Biki bye tuyinza okukozesa okulamba ku bye tusomye mu Bayibuli?
Lwaki kikulu nnyo okufumiitiriza bwe tuba tusoma Bayibuli?
Bye tuyize tusaanidde kubikozesa tutya?
“Amateeka go nga ngaagala nnyo! Ngafumiitirizaako okuzibya obudde.”—Zb 119:97