Koppa Endowooza ya Yesu
1. Kristo yayoleka ndowooza ki?
1 Wadde nga tetulabanga ku Mwana wa Katonda, ebyawandiikibwa ebikwata ku bulamu bwe n’obuweereza bwe, bituleetedde okumwagala ennyo. (1 Peet. 1:8) Ng’alaga obuwulize eri Kitaawe, yaleka ekifo kye eky’ekitiibwa mu ggulu n’ajja ku nsi. Ng’ali ku nsi, yaweereza abantu mu ngeri ey’obuteefaako era n’awaayo obulamu bwe ku lwabwe. (Mat. 20:28) Ekigambo kya Katonda kitukubiriza: ‘Mubenga n’endowooza nga Kristo gye yalina.’ Tuyinza tutya okukoppa omwoyo gwe yalaga ogw’okwefiiriza?—Baf. 2:5-8.
2. Buzibu ki Abakristaayo bangi bwe boolekaganye nabwo, era kiki ekiyinza okubayamba okubuvvuunuka?
2 Ng’Owulira Okooye: Wadde nga Yesu yali atuukiridde, yakoowanga. Lumu, wadde ‘ng’olugendo lwali lumukooyezza,’ Yesu yabuulira omukyala Omusamaliya. (Yok. 4:6) Abakristaayo bangi leero boolekagana n’obuzibu obufaananako ng’obwo. Oluvannyuma lw’okukola ennyo mu wiiki, kiyinza okubazibuwalira okugenda mu nnimiro. Naye singa twenyigira mu buweereza obw’Ekikristaayo obutayosa, tujja kukisanga nti butuzzaamu amaanyi mu by’omwoyo.—Yok. 4:32-34.
3. Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Yesu eky’okuba abeetegefu okuyigiriza abalala?
3 Olulala, Yesu n’abayigirizwa be baagenda mu kifo ekyekusifu basobole okuwummulako. Kyokka, abantu bwe baakitegeera badduka ne babasookayo. Mu kifo ky’okuwulira obubi, Yesu ‘yabasaasira’ era n’atanula “okubayigiriza ebigambo bingi.” (Mak. 6:30-34) Okufuna ow’okuyigiriza Baibuli era n’okumuyigiriza kyetaagisa okuba n’endowooza efaananako ng’eyo. Kitwetaagisa okufuba ennyo era n’okuba n’okwagala okwa nnamaddala eri abantu. Bw’oba tonnafuna gw’oyigiriza Baibuli, tokoowa kumunoonya.
4. Okuweereza nga bapayoniya abawagizi kituyamba kitya okukoppa endowooza ya Kristo?
4 Teeka eby’Omwoyo mu Kifo Ekisooka: Okuweereza nga bapayoniya abawagizi kiyinza okutuyamba okulowooza ennyo ku bintu eby’omwoyo. Mwannyinaffe omu omuto yawandiika: “Maama w’omu ku mikwano gyange yatukubiriza ffembi okukola naye nga bapayoniya abawagizi omwezi gumu. Kyansanyusa nnyo okuba nti twamwegattako. Kyansobozesa okumanya ab’oluganda mu ngeri esingawo, era ne ntandika okuwulira nga bafuuse ba ku lusegere. Era nnanyumirwa nnyo okwogera n’abalala ebikwata ku Yakuwa n’okubayigiriza amazima agakwata ku Bwakabaka. Bino byonna byandeetera okuwulira nga nneeyongedde okuba okumpi ne Yakuwa awamu n’ekibiina kye.”—Zab. 34:8.
5. Lwaki twandyeyongedde okufuba okukoppa endowooza ya Yesu buli kiseera?
5 Ffenna tulwanagana n’emibiri gyaffe egitatuukiridde nga tufuba okusanyusa Yakuwa. (Bar. 7:21-23) Tuteekwa okuziyiza omwoyo gw’ensi ogw’obutayagala kubaako kye twefiiriza. (Mat.16:22, 23) Yakuwa asobola okutuyamba okutuuka ku buwanguzi ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu. (Bag. 5:16, 17) Nga bwe tulindirira okununulibwa okuyingira mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu, ka tukoppe endowooza ya Kristo nga tukulembeza obwakabaka era n’okufaayo ku byetaago by’abalala.—Mat. 6:33; Bar. 15:1-3.