Koppa Obwenkanya bwa Yakuwa
1 ‘Yakuwa ayagala obwenkanya.’ (Zab. 37:28) Wadde nga Yakuwa agenda kuzikiriza ensi eno embi, asoose kukola nteekateeka ey’okulabula abantu. (Mak. 13:10) Kino kiwa abantu omukisa ogw’okwenenya basobole okulokolebwa. (2 Peet. 3:9) Tufuba okukoppa obwenkanya bwa Yakuwa? Ebizibu abantu bye balina bituleetera okubabuulira ku ssuubi ery’Obwakabaka? (Nge. 3:27) Obwenkanya bujja kutukubiriza okwenyigira mu kubuulira.
2 Bw’Oba Obuulira Tososola: Bwe tulangirira ebigendererwa bya Katonda eri buli muntu nga tetusosola, tuba ‘tulaga obwenkanya.’ (Mi. 6:8) Tuteekwa okwewala okusosola olw’endabika y’omuntu. (Yak. 2:1-4, 9) Yakuwa “ayagala abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima.” (1 Tim. 2:4) Ekigambo kya Katonda eky’amazima kireetera abantu okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe. (Beb. 4:12) Bwe tutegeera kino, tujja kutuukirira abantu nga tuli bakakafu nti bayinza okukyuka wadde nabo abataawuliriza mu kusooka.
3 Mwannyinaffe omu akola mu dduuka yatya omusajja omu eyamugulangako ebintu olw’endabika ye. Wadde kyali kityo, bwe yafuna akakisa, yagezaako okumubuulira ebikwata ku Lusuku lwa Katonda olwasuubizibwa. Yamuddamu butereevu nti ye ng’omunywi w’enjaga, yali takkiririza mu bintu bye bamala gateebereza. Mwannyinaffe ekyo tekyamumalaamu maanyi. Lumu omusajja ono yabuuza mwannyinaffe endowooza gye yalina ku nviiri empanvu. Mu ngeri ennungi mwannyinaffe yamunnyonnyola endowooza ya Baibuli ku nsonga eno. (1 Kol. 11:14) Olunaku olwaddirira, mwannyinaffe yeewunya nnyo okulaba nti omusajja ono yali amwedde bulungi ebirevu era nga n’enviiri azisazeeko! Okugatta ku ekyo, yasaba okumusomesa Baibuli era mwannyinaffe n’amufunira omu ku baganda baffe okumusomesa, n’ekyavaamu yakulaakulana ne yeewaayo era n’abatizibwa. Okufaananako omusajja oyo, abaweereza ba Yakuwa bangi leero basiima abo abaabatuusaako obubaka bw’Obwakabaka nga tebalina kusosola.
4 Mangu nnyo Yakuwa agenda kuggyawo obutali butuukirivu obuli mu nsi. (2 Peet. 3:10, 13) Mu kiseera kino ekitono ekisigaddeyo, ka tukoppe obwenkanya bwa Yakuwa nga tuwa bonna akakisa ak’okuwonawo ku lunaku lwa Yakuwa olw’okuzikiriza ensi ya Setaani embi.—1 Yok. 2:17.