Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana
Ekitundu 5: Okumanya Obungi bw’Ebyo by’Olina Okuyigiriza Omuyizi
1 Bwe yalinga ayigiriza, Yesu yafangayo ku busobozi bw’abayigirizwa be, ng’abayigiriza ‘okusinziira ku busobozi bwabwe.’ (Mak. 4:33, Baibuli ey’Oluganda eya 2003; Yok. 16:12) Mu ngeri y’emu, abo abayigiriza abantu Ekigambo kya Katonda balina okumanya obungi bw’ebyo bye basaanidde okubayigiriza. Obungi bw’ebyo ebirina okuyigirizibwa bwandisinzidde ku busobozi n’embeera y’omusomesa awamu n’omuyizi.
2 Zimba Okukkiriza Okunywevu: Abayizi abamu bye bayiga omulundi ogumu abalala kibeetaagisa emirundi ebiri oba essatu okusobola okubitegeera. Ekisinga obukulu kwe kuyamba omuyizi okutegeera obulungi by’asoma so si okumuyigiriza ebintu ebingi mu kiseera ekitono. Buli muyizi yeetaaga okutegeera obulungi ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda asobole okunyweza okukkiriza kwe.—Nge. 4:7; Bar. 12:2.
3 Nga muyiga buli wiiki, waayo ebiseera ebimala okuyamba omuyizi okutegeera n’okukkiriza ebyo by’ayiga okuva mu Kigambo kya Katonda. Weewale okwanguyiriza kubanga ekyo kiyinza okumulemesa okutegeera obulungi amazima. Waayo ebiseera ebimala okumunnyonnyola ensonga enkulu n’ebyawandiikibwa ebiggyayo ensonga z’omuyigiriza.—2 Tim. 3:16, 17.
4 Tolandagga: Tulina okwewala okwanguyiriza era n’okulandagga nga tuyigiriza omuyizi. Singa omuyizi agezaako okulandagga ng’ayogera ku bimukwatako, tuyinza okutegeka okubyogerako oluvannyuma lw’okusoma.—Mub. 3:1.
5 Ku luuyi olulala, naffe tulina okwewala okwogera ekisukkiridde nga tuyigiriza. (Zab. 145:6, 7) Tekiba kibi okukozesa ensonga endala oba ekyokulabirako, naye tebirina kuba bingi ne bituuka n’okulemesa omuyizi okutegeera obulungi enjigiriza za Baibuli enkulu.
6 Bwe tuyigiriza omuyizi wa Baibuli ebintu eby’ekigero buli lwe tuba tuyiga, tuba tumuyamba ‘okutambulira mu kitangaala kya Mukama.’—Is. 2:5.