Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Des. 15
“Mu kiseera kino, okwetooloola ensi yonna, abantu bajjukira amazaalibwa ga Yesu mu ngeri ez’enjawulo. Obadde okimanyi nti Baibuli ekwataganya okuzaalibwa kwa Yesu n’emirembe egy’olubeerera? [Muleke abeeko ky’addamu. Bw’amala, soma Isaaya 9:6, 7.] Magazini eno eraga engeri gye tunaafunamu emirembe egyo.”
Awake! Des. 22
“Okyetegerezza nti ennaku zino abantu bafaayo nnyo ku ndabika yaabwe ey’okungulu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga akabi akali mu kufaayo ennyo ku ndabika ey’okungulu. Ate era eyogera ku bulungi obusinga obw’okungulu.” Soma 1 Peetero 3:3, 4.
The Watchtower Jan. 1
“Amadiini agasinga obungi gayigiriza abantu okwagala balirwana baabwe. [Soma Matayo 22:39.] Olowooza lwaki ate amadiini geenyigidde mu ntalo ezisinga obungi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eddamu ekibuuzo ekigamba nti: Amadiini gayinza okuleetera abantu bonna okubeera obumu?”
Awake! Jan. 8
“Wandizzeemu otya ekibuuzo kino? [Soma ekibuuzo ekiri ku ddiba lya magazini. Muleke abeeko ky’addamu.] Wadde ng’obutonde bw’onooneddwa nnyo, weetegereze ekisuubizo kino ekizzaamu amaanyi. [Soma Zabbuli 104:5.] Magazini eno ennyonnyola engeri ensi yaffe gy’enezzibwamu obuggya.”