Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Des. 15
“Mu biseera by’ennaku enkulu, abantu bangi bafuba okulaga abalala ekisa. Ggwe olowooza ensi yandibadde nnungi okusingawo singa abantu baali ba kisa okumala omwaka gwonna? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma 1 Peetero 3:8.] Magazini eno eyogera ku miganyulo egiri mu kuba ab’ekisa era n’engeri gye tuyinza okukyolekamu.”
Awake! Des.
“Olowooza abaagalwa baffe abaafa baliddamu okuba abalamu nate? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli eraga nti waliwo essuubi ery’okuzuukira. [Soma Zabbuli 68:20.] Magazini eno ewa ensonga lwaki tetwanditidde nnyo kufa nga tulowooza nti abafu tebaliddamu kuba balamu nate.”
The Watchtower Jan. 1
“Abantu bangi basaba Obwakabaka bwa Katonda bujje. Ng’ekyokulabirako, weetegereze essaala eno emanyiddwa ennyo Yesu gye yayigiriza abagoberezi be. [Soma Matayo 6:9, 10.] Ggwe olowooza Obwakabaka bwa Katonda kye ki era bulijja ddi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno.”
Awake! Jan.
“Mu byafaayo by’omuntu byonna abakazi babadde baboolebwa era nga bayisibwa mu ngeri ey’obukambwe. Ggwe olowooza lwaki kino kiri bwe kityo? [Muleka abeeko ky’addamu.] Weetegereze obulagirizi obuli mu Baibuli obulaga engeri abaami gye basaanidde okuyisaamu bakyala baabwe. [Soma 1 Peetero 3:7.] Magazini eno eraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku ngeri Katonda ne Kristo gye batwalamu abakazi.”