Vidiyo Erimu Obubaka Obuganyula
Bubaka ki obuli mu vidiyo David—He Trusted in God? Okufaananako Dawudi, tuteekwa okwesiga Yakuwa. (Zab. 91:2) Bwe tulaba vidiyo eraga ebyo ebyatuuka ku Dawudi, kijja kutuganyula nnyo ffenna abato n’abakulu era tuyigire ku kyokulabirako kye yassaawo. (Zab. 31:14) Okusobola okutuganyula ekisingawo, DVD eno etegekeddwa ng’erimu “Ebibuuzo” era n’ebintu ebirala bingi “Ebiyigiriza.”
Laba vidiyo eno, era weebuuze: (1) Lwaki Yakuwa yalonda kabaka asingako obulungi? (1 Sam. 15:10, 11; 16:1) (2) Lwaki teyalonda omu ku baganda ba Dawudi? (1 Sam. 16:6, 7) (3) Lwaki Sawulo yayagala Dawudi amukubire ennanga? (1 Sam. 16: 14-23) (4) Goliyaasi ye yali ani? (1 Sam. 17:4-10) (5) Lwaki Dawudi yayagala okulwanyisa Goliyaasi? (1 Sam. 17:23, 24, 36, 37) (6) Yonasaani ye yali ani? (1 Sam. 14:1) (7) Kiki ekyaviirako Sawulo okufuuka omulabe wa Dawudi? (1 Sam. 18:25-29) (8) Lwaki Dawudi teyatta Sawulo? (1 Sam. 26:7-11) (9) Sawulo yafa atya? (1 Sam. 31:1-6) (10) Dawudi yawulira atya nga Yonasaani afudde? (2 Sam. 1:11, 12) (11) Kiki Yakuwa kye yasuubiza Dawudi? (2 Sam. 7:12, 13, 16) (12) Nsobi ki ey’amaanyi Dawudi gye yakola? (2 Sam. 11:1-5, 14-17) (13) Dawudi yalaga atya nti anakuwalidde ensobi ye? (Zab. 51) (14) Dawudi yabuulirira atya Sulemaani eyali omuto? (1 Bassek. 2:1-4; 1 Byom. 22:6-13; 28:9, 10) (15) Obufuzi bwa Yesu bunaagannyula butya Dawudi, Yonasaani era naawe?—Is. 11:6-9; Yok. 11:25, 26.
Kirowoozeko: Oyinza otya okussa obwesige mu Katonda nga Dawudi bwe yakola?
Abazadde, muyigirize abaana bammwe okwesiga Katonda buli kiseera nga Dawudi bwe yakola.—Zab. 56:11