LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 5/05 lup. 3-6
  • Kola Enteekateeka y’Amaka Ennungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kola Enteekateeka y’Amaka Ennungi
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Similar Material
  • Enteekateeka y’Amaka—Okwekenneenya Ekyawandiikibwa eky’Olunaku
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Weenyigire mu Buweereza mu Bujjuvu—Wadde ng’Olina eby’Okukola Bingi
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Ekyawandiikibwa ky’Olunaku Si kya Kuddamu Kukozesebwa mu Nkuŋŋaana z’Okubuulira
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Emitwe gy’Amaka—Mubeere n’Enkola Ennuŋŋamu ey’Eby’Omwoyo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 5/05 lup. 3-6

Kola Enteekateeka y’Amaka Ennungi

1 Mu Kubuulira kwe okw’oku Lusozi, Yesu yakubiriza abaali bamuwuliriza bw’ati: “Musooke munoonye obwakabaka bwe n’obutuukirivu bwe.” (Mat. 6:33) Engeri ennungi ey’okukolamu enteekateeka y’amaka ne kiba nti ebintu eby’omwoyo biteekebwa mu kifo ekisooka, kwe kugissa mu buwandiike. Funayo eddakiika ntonotono okole enteekateeka y’amaka go eya buli wiiki, nga weeyambisa enteekateeka etajjuziddwamu eri ku lupapula 6. Abamu bayinza okukomola obupapula ne babuteeka mu mabanga agamu agali mu kasanduuku akalaga enteekateeka y’amaka. Abalala bayinza okuwandiikamu buteerevu.

2 Enteekateeka eri wammanga eweereddwa ng’ekyokulabirako okukuyamba okukola enteekateeka y’amaka go. Ojja kukyetegereza nti erimu ebintu bina ebikulu: (1) okubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, (2) okubuulira awamu ng’amaka, (3) okusoma kw’amaka, ne (4) okwekenneenya ekyawandiikibwa eky’olunaku. Ebintu bino bw’obiteeka mu nteekateeka yo ey’amaka, biyinza okukuyamba ‘okukulembeza ebintu ebisinga obukulu.’ (Baf. 1:10) Ebirala ebikwata ku bintu bino ebina biri ku mpapula 4-5.

3 Tekitegeeza nti ebintu ebyo ebina byokka bye birina okuba ku nteekateeka y’amaka go. Bwe wabaawo enkuŋŋaana ezimu ze mutegekera awamu ng’amaka, ziwandiike ku nteekateeka eyo. Bwe muba musomera wamu ekitundu okuva mu Baibuli oluvannyuma lw’okwekenneenya ekyawandiikibwa eky’olunaku, oba nga mukisoma mu kiseera ekirala, ekyo nakyo kiwandiikeko. Bwe kiba nti mutera okwesanyusaamu, ekyo nakyo oyinza okukiteeka ku nteekateeka y’amaka.

4 Kakasa nti enteekateeka gy’okoze etuukagana bulungi n’ebyetaago era n’embeera y’ab’omu maka go bonna. Buli luvannyuma lwa kiseera, kebera olabe obanga kyetaagisa okukola enkyukakyuka mu nteekateeka y’amaka go.

[Ekipande ekiri ku olupapula 3]

Bbalaza Olwokubiri Olwokusatu Olwokuna Olwokutaano Olwomukaaga

Ku makya Olweggulo Akawungeezi

Sande Ekyawandiikibwa eky’Olunaku

Emboozi ya Bonna n’Okusoma

Omunaala gw’Omukuumi

Balaza Ekyawandiikibwa eky’Olunaku Okusoma kw’Amaka

Olwokubiri Ekyawandiikibwa eky’Olunaku Okusoma

Ekitabo okw’Ekibiina

Olwokusatu Ekyawandiikibwa eky’Olunaku

Olwokuna Ekyawandiikibwa eky’Olunaku Essomero

ly’Omulimu gwa

Katonda

n’Olukuŋŋaana

lw’Obuweereza

Olwokutaano Ekyawandiikibwa eky’Olunaku

Olwomukaaga Ekyawandiikibwa eky’Olunaku

n’Olukuŋŋaana

lw’Obuweereza

(Olunaku lw’Okugaba Magazini)

[Ekipande ekiri ku olupapula 6]

Enteekateeka y’Amaka

Ku makya Olweggulo Akawungeezi

Sande.

Balaza

Olwokubiri

Olwokusatu

Olwokuna

Olwokutaano

Olwomukaaga

..................................................................Daily Daily Daily Daily Daily Daily Daily

Text Text Text Text Text Text Text

Public Theo- Congre- Family Family Family Family

Talk cratic gation Study Field Bible Recre-

and Ministry Book Service Reading ation

Watch- School Study

tower and

Study Service

Meeting

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share