Faayo ku Bantu—Nga Weetegereza Ebibakwatako
1 Yakuwa Katonda ne Kristo Yesu bamanya ebyetaago by’abantu era ne babayamba. (2 Byom. 16:9; Mak. 6:34) Bwe tumanya ebintu abantu bye basinga okwagala n’ebyo ebibeeraliikiriza nga tugenze okubuulira, tujja kusobola okutuukanya ennyanjula zaffe n’embeera zaabwe.
2 Wekkaanye Ebintu Ebiwerako: Yesu yali muntu eyeetegereza. (Mak. 12:41-43; Luk. 19:1-6) Mu ngeri y’emu, bwe tutuuka mu maka g’omuntu ne tulaba ebifaananyi by’eddiini, ebigambo ebiri ku mmotoka, oba ebintu abaana bye bazannyisa ebiri mu lujja, tusobola okusinziira ku bintu ng’ebyo okubuulira amawulire amalungi.
3 Engeri omuntu gy’atunulamu ne gye yeeyisaamu eyinza okulaga ekimuli ku mutima. (Nge. 15:13) Oboolyawo yeetaaga okubudaabudibwa olw’okufiirwa omwagalwa we oba olw’embeera endala yonna enzibu gy’alimu. Kiyinza okuba ekirungi okumusomera ebyawandiikibwa ebituukagana n’embeera gy’alimu. (Nge. 16:24) Nnyinimu omusanze ali mu bwangu ng’alinako gy’alaga oba ng’asitudde omwana akaaba? Bwe kiba bwe kityo, kiyinza okuba ekirungi okuddayo omulundi omulala. Bwe tulaga omuntu nti tumufaako era nti ‘tumwagala,’ kiyinza okumusikiriza okutuwuliriza nga tuzzeeyo omulundi omulala.—1 Peet. 3:8.
4 By’Oyogera Bituukaganye n’Embeera: Omutume Pawulo yalaba ab’omu kibuga kya Asene nga balina ekyoto kye baali bawaddeyo eri ‘Katonda Atategeerwa.’ Ekyo kye yasinziirako okubuulira amawulire amalungi era yagamba: “Kye musinza nga temukitegeera nze kye mbabuulira.” Engeri Pawulo gye yatandikamu okubuulira yaviirako abamu okuwuliriza obubaka bw’Obwakabaka era ne bafuuka abakkiriza.—Bik. 17:23, 34.
5 Mu ngeri y’emu, okwetegereza kutuyamba okumanya omuntu by’asinga okwagala era ekyo kitusobozesa okukozesa ennyanjula etuukirawo. Kozesa ebibuuzo ebiyinza okuleetera nnyinimu okuwa endowooza ye. Lowooza ku byawandiikibwa by’oyinza okukozesa okusikiriza omuntu okumanya ebisingawo. (Nge. 20:5) Bwe twetegereza ebikwata ku bantu era ne tulaga nti tubafaako, kijja kutuyamba okubuulira obulungi amawulire amalungi.