Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okufaayo ku Oyo Gwe Tuba Tubuulira
Lwaki Kikulu: Yesu yali ayagala nnyo abantu era ng’abafaako kinnoomu. Ng’ekyokulabirako, lumu bwe yali agenda kuwonya kiggala, kirabika yakiraba nti omusajja oyo yalina ensonyi era yasooka kumuzza ku bbali awataali bantu n’alyoka amuwonya. (Mak. 7:31-35) Yafangayo ku bayigirizwa be ng’amanya obusobozi bwabwe we bukoma, era nga tabayigiriza bintu bingi. (Yok. 16:12) Wadde nga kati Yesu ali mu ggulu, akyafaayo ku bantu kinnoomu. (2 Tim. 4:17) Olw’okuba tuli bagoberezi ba Kristo, tusaanidde okumukoppa. (1 Peet. 2:21; 1 Yok. 3:16, 18) Okugatta ku ekyo, tujja kutuukiriza bulungi obuweereza bwaffe bwe tunaafaayo ku oyo gwe tubuulira nga tufuba okumanya embeera ye, by’ayagala, n’ebimweraliikiriza. Ajja kutuwuliriza singa akiraba nti tumufaako, era nti ekigendererwa kyaffe si kumubuulira bubuulizi oba kumuwa buwi bitabo byaffe.
Mu Mwezi Guno Gezaako Kino:
Mu kusinza kwammwe okw’amaka, mwegezeemu engeri omubuulizi gy’ayinza okukyusaamu ennyanjula ye n’ayogera ku ekyo omuntu ky’aba ayogedde.
Mu nkuŋŋaana ezimu ez’okugenda okubuulira, ow’oluganda akubiriza ayinza okulaga ekyokulabirako, oba okwogera ku engeri gye tuyinza okulaga nti tufaayo ku balala.