Essomero Erituyamba Okuteeka mu Nkola bye Tuyiga
1 Bwe tunaaba nga twekenneenya ebyo ebiri mu nteekateeka y’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda eya 2006, tujja kuganyulwa nnyo mu kuyigirizibwa okwo okwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa singa bye tunaayiga tunaabikozesa mu nnimiro era ne mu bulamu bwaffe obwa bulijjo. Tulina okukakasa nti tussa mu nkola ebyo bye tuyiga.—Yok. 13:17; Baf. 4:9.
2 Okubaako bye Tuddamu: Enteekateeka y’omwaka guno eraga nti abawuliriza bongeddwayo eddakiika emu ku ezo ze balina okukozesa nga babaako bye boogera ku bibadde mu kusoma Baibuli okwa wiiki. Kino kiba kitegeeza nti ow’oluganda alina enkizo ey’okunokolayo ezimu ku nsonga eziri mu ssuula za Baibuli eziba zisomeddwa mu wiiki eyo, alina okukozesa eddakiika ttaano zokka mu kifo ky’omukaaga. Abo abalondebwa okubaako bye boogera nabo balina okukuuma obudde. Omuntu bw’aba nga yategese bulungi, asobola okuggyayo ensonga ezizimba mu butikitiki 30 bwokka oba n’obutawera. Abantu nga kkumi be basobola okubaako ne bye boogera mu ddakiika ezo ettaano eziweereddwa abawuliriza.
3 Emboozi Eziyigiriza: Ow’oluganda anokolayo ezimu ku nsonga eziri mu ssuula za Baibuli ezisomeddwa wiiki eyo, n’oyo awa emboozi esooka, basaanidde kuggyayo nsonga ezo zokka ezikwata ku buweereza bwaffe awamu n’obulamu bwaffe obwa bulijjo. Omwogezi talina kukoma ku kutegeeza abawuliriza kye balina okukola kyokka, naye era alina n’okubalaga engeri gye bayinza okukikolamu, era n’emiganyulo egiva mu kukikola. Ayinza okugamba nti, “Kiki kye tuyiga mu kyawandiikibwa kino?” Oba nti “ennyiriri zino tuyinza kuzikozesa tutya mu buweereza obw’ennimiro?” Abakadde n’abaweereza abamanyi ebyetaago by’ekibiina, basaanidde okuggumiza ensonga ezo ezikwatagana n’ebyetaago ebyo era n’okulaga engeri gye ziyinza okuteekebwa mu nkola.
4 Okuggyayo ebimu ku byokulabirako ebiri mu Baibuli, kiyinza okuyamba omwogezi okulaga abawuliriza engeri y’okussa mu nkola ebyo by’ayogerako. Oluvannyuma lw’okwogera ku kyokulabirako okuva mu byawandiikibwa, omwogezi ayinza okugamba nti, “Naawe oyinza okwesanga mu mbeera ng’eno.” Kyokka bw’aba ng’akola kino, alina okukakasa nti engeri gy’annyonnyolamu ebyokulabirako ebyo ekwatagana bulungi n’ebyawandiikibwa ebyetooloddewo, ne Baibuli yonna okutwaliza awamu, era n’ebyo ebiri mu bitabo ‘by’omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’—Mat. 24:45.
5 Amagezi bwe busobozi bw’okukozesa obulungi okumanya n’okutegeera. “Amagezi kye kintu ekisinga obukulu.” (Nge. 4:7) Nga tugenda tweyongera okufuna amagezi okuyitira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, ka tweyongere okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu.