LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 6/06 lup. 1
  • Faayo ku Bantu—Ng’Obasiima

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Faayo ku Bantu—Ng’Obasiima
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Similar Material
  • Okusiimibwa Kuzzaamu Amaanyi
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Mwogerenga Ebigambo ‘Ebirungi Ebisobola Okuzimba Abalala’
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Okuzimbagana nga Tuli mu Buweereza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Faayo ku Bantu—Nga Weetegereza Ebibakwatako
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 6/06 lup. 1

Faayo ku Bantu​—Ng’Obasiima

1 Abantu bwe basiimibwa, baddamu amaanyi, era bafuna essanyu. Ababuulizi bangi bakizudde nti bwe batandika n’ebigambo ebisiima, abantu babawuliriza. Kati olwo bwe tuba tubuulira, tuyinza tutya okusiima abantu basobole okutuwuliriza?

2 Weetegereze: Ng’amaze okuddayo mu ggulu, Yesu Kristo yeetegereza ebintu ebirungi ebyali bikolebwa mu bibiina omusanvu eby’omu Asiya Omutono. (Kub. 2:2, 3, 13, 19; 3:8) Mu ngeri y’emu, naffe bwe tufaayo ku bantu be tusanga mu buweereza, kituyamba okubaako bye tulaba bye tuyinza okusinziirako okubasiima. Ng’ekyokulabirako, bwe tusanga amaka amayonjo, omuzadde alabirira obulungi abaana be, oba gwe tusanze awaka bw’atwaniriza obulungi, kituwa akakisa okubeebaza. Ofaayo okwetegereza ebintu by’oyinza okusinziirako okusiima abalala?

3 Wuliriza Bulungi: Bw’oba obuulira abantu, bawe akakisa okuwa endowooza yaabwe ng’obabuuza ebibuuzo ebisaanira. Basseemu ekitiibwa ng’owuliriza bulungi bye boogera. (Bar. 12:10) Bw’onoobawuliriza, oyinza okufuna ekintu ky’oyinza okusinziirako okubasiima, ekinaakusobozesa okukubaganya nabo ebirowoozo.

4 Kozesa Amagezi: Kiki kye twandikoze singa gwe tubuulira ayogera ekintu ekikontana n’amazima agali mu Baibuli? Mu kifo ky’okulaga nti tokkiriziganyizza ne by’ayogedde, musiime olw’okuwa endowooza ye, era oyongerezeeko nti: “Kindabikira ensonga eno ogirowoozezzaako nnyo.” (Bak. 4:6) Omuntu ne bw’atuwakanya, era tuyinza okumusiima olw’okuba ataddeyo omwoyo ku kye twogerako. Bwe tukola bwe tutyo, kiyinza okumuleetera okuwuliriza amawulire amalungi.​—Nge. 25:15.

5 Bwe tuba tusiima omuntu, tusaanidde okuba abeesimbu. Ekyo kijja kuweesa Yakuwa ekitiibwa era kiyinza okusikiriza abalala okuwuliriza obubaka bw’Obwakabaka.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share