Okusiimibwa Kuzzaamu Amaanyi
1 Akawala akato kaakaaba nga kazazikiddwa mu buliri: “Ddala ssibadde mwana mulungi leero?” Ekibuuzo ekyo kyewuunyisa nnyo maama waako. Wadde nga yali akalabye nga keeyisizza bulungi, teyakasiima. Okuba nti akawala ako kaakaaba olw’obutasiimibwa, kitujjukiza nti ffenna—ka tube bakulu oba bato—twetaaga okusiimibwa. Tuzzaamu amanyi abo be tuli nabo nga tubasiima olw’ebirungi bye bakola?—Nge. 25:11.
2 Waliwo ensonga nnyingi ezituleetera okusiima Bakristaayo banaffe. Abakadde, abaweereza mu kibiina, ne bapayoniya bakola nnyo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. (1 Tim. 4:10; 5:17) Abazadde Abakristaayo bafuba okukuliza abaana baabwe mu kkubo lya Yakuwa. (Bef. 6:4) Abavubuka Abakristaayo balwana bwezizingirire okuziyiza ‘omwoyo gw’ensi.’ (1 Kol. 2:12; Bef. 2:1-3) Abalala baweereza Yakuwa n’obwesigwa wadde nga bagenda bakaddiwa, balwalalwala, oba nga balina ebizibu ebirala. (2 Kol. 12:7) Abantu abalinga abo bagwanidde okusiimibwa. Tubeebaza olw’ebyo bye bakola?
3 Okusiima Omuntu olw’Ekyo ky’Akoze: Ffenna tusanyuka nnyo bwe twebazibwa ng’ekibiina. Kyokka, okusiimibwa kinnoomu kizzaamu amaanyi n’okusingawo. Ng’ekyokulabirako, mu ssuula 16, ey’ebbaluwa ye eri Abaruumi, Pawulo yasiima kinnoomu, Foyibe, Pulisika ne Akula, Terufayina ne Terufoosa, awamu ne Perusi n’abalala. (Bar. 16:1-4, 12) Ebigambo bye nga biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo amaanyi abeesigwa abo! Okusiima ng’okwo kuleetera ab’oluganda ne bannyinaffe okumanya nti beetaagibwa era kutusobozesa okunyweza enkolagana yaffe nabo. Olina omuntu yenna gwe wasiima gye buvuddeko awo?—Bef. 4:29.
4 Okusiima Okuviira Ddala ku Mutima: Okusiima kulina kuviira ddala ku mutima okusobola okuzzaamu abalala amaanyi. Abantu basobola okumanya obanga ddala okusiima kwaffe kuviira ddala ku mutima oba nti ‘tubawaana buwaanyi.’ (Nge. 28:23) Bwe twekubiriza okunoonyereza ebirungi mu balala, kijja kutuviirako okubasiima. Ka tweyongere okulaga okusiima okwa nnamaddala nga tumanyi nti ‘ekigambo ekyogerwa mu kiseera ekituufu kiba kirungi nnyo!’—Nge. 15:23.