Yamba Omuyizi Okutegeera n’Okusiima Engeri za Yakuwa Ezitenkanika
1 Bwe tuba mu buweereza bwaffe tetukoma ku kuyigiriza bantu mazima ga Baibuli kyokka, wabula tubayamba okutegeera engeri za Yakuwa ezitenkanika n’okuzisiima. Abantu ab’emitima emirungi bwe bayiga amazima agakwata ku Katonda, bakwatibwako era ne bakola ekyukakyuka mu bulamu bwabwe basobole ‘okutambulanga nga bwe kisaanira mu Mukama waffe olw’okusiimibwa kwonna.’—Bak. 1:9, 10; 3:9, 10.
2 Eky’Okukozesa Ekipya mu Kuyigiriza: Okuva ku ntandikwa, akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza koogera ku ngeri za Yakuwa. Essuula esookera ddala eddamu ebibuuzo bino: Ddala Katonda akufaako?, Katonda muntu wa ngeri ki?, era Kisoboka okusemberera Katonda? Essuula eyo era eraga nti Yakuwa mutukuvu (kat. 10), mwenkanya era musaasizi (kat. 11), wa kwagala (kat. 13), wa maanyi (kat. 16), wa kisa, mwetegefu okusonyiwa, mugumiikiriza, era mwesigwa (kat. 19). Akatundu 20 kawumbawumbako nga kagamba nti: “Gy’onookoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa, gy’ajja okukoma okubeera owa ddala gy’oli era gy’ojja okukoma okumwagala n’okuwulira ng’oli kumpi naye.”
3 Tuyinza tutya okukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza okuyamba abayizi ba Baibuli okufuna enkolagana ne Yakuwa? Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ku katundu akoogera ku emu ku ngeri za Katonda, tuyinza okubuuza omuyizi, “Engeri eno ekuyigiriza ki ku Yakuwa?” oba “Engeri eno eraga etya nti Katonda akufaako?” Bwe tukozesa ebibuuzo nga bino nga tusomesa abantu, tuba tubayigiriza okufumiitiriza ku kye bayiga era tuba tubayamba okwongera okutegeera engeri za Yakuwa ezitenkanika.
4 Kozesa Akasanduuko Akalimu eby’Okwejjukanya: Ku nkomerero ya buli ssuula, saba omuyizi ayogere mu bigambo bye ku buli nsonga eri mu kasanduuko “Baibuli Ky’Eyigiriza.” Musabe ayogere ku byawandiikibwa ebiweereddwa. Okusobola okumanya ekiri ku mutima gw’omuyizi, oluusi oyinza okumubuuza, “Baibuli ky’eyigiriza ku nsonga eno okirowoozaako otya?” Bw’okola bw’otyo, tokoma ku kukkaatiriza nsonga nkulu mu ssuula eyo kyokka, naye era kikuyamba n’okutegeera omuyizi ky’akkiriza. Kino kijja kuyamba omuyizi okufuna enkolagana ne Yakuwa.