Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jun. 15
“Olowooza omuntu asobola okubeera omusanyufu wadde ng’alina ebizibu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga gye tuyinza okufuna obulagirizi okusobola okwaŋŋanga ebizibu bye tusanga mu bulamu. Ate era eraga engeri essubi erya nnamaddala gye lisobola okutuzzaamu amaanyi.” Soma Okubikkulirwa 21:3, 4.
Awake! Jun.
“Tokkiriza nti obutyabaga obubaddewo gye buvuddeko awo bulaga nti kirungi okugoberera okulabula okuba kuweereddwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kiraga ebyo abaasimattuka omuyaga oguyitibwa Katrina bye baayiga. Ate era kyogera ku kulabula ffenna kwe tulina okugoberera.” Yogera ku kitundu ekiri lupapula 14.
The Watchtower Jul. 1
“Mu nsi eno ejjudde emitawaana, abantu beebuuza nti: ‘Lwaki obulamu bujjudde ebizibu? Katonda bw’aba nga ddala gy’ali, lwaki tabaako ky’akolawo okumalawo okubonaabona?’ Ebibuuzo ebyo wali obyebuuzizzaako? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno erimu eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo okuva mu Baibuli.” Soma 2 Timoseewo 3:16.
Awake! Jul.
“Obufumbo bungi leero bweyongedde okubaamu ebizibu. Olowooza abafumbo basobola okuganyulwa singa bassa mu nkola okubuulirira kuno okwaluŋŋamizibwa? [Soma Abaefeso 4:32. Oluvannyuma muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga emisingi gya Baibuli egiyinza okutuyamba okuba n’obufumbo obulimu essanyu.”