LUTEREKE
Ennyanjula Eziyinza Okukozesebwa mu Kugaba Brocuwa
Ennyanjula ezitali zimu ziragiddwa ku lupapula luno okukuyamba okugaba brocuwa. Osobola okuzituukanya n’embeera y’omu kitundu kyammwe. Ennyanjula endala nazo ziyinza okukozesebwa. Brocuwa ezitayogeddwako ku lupapula luno oyinza okuzigaba ng’okozesa ennyanjula ezifaananako zino.—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2005 lup. 8.
Buli nnyanjula eweereddwa ku lupapula luno erimu (1) ekibuuzo ekireetera omuntu okulowooza ne kiviirako emboozi okutandika, (2) we tuyinza okusanga ensonga ezoogerwako mu brocuwa ne (3) ekyawandiikibwa ekituukirawo ekiyinza okusomebwa nga mukubaganya ebirowoozo. Oyinza okwongerezaako ebigambo byo ebirala ng’osinziira ku ngeri omuntu gy’akuzzeemu.
A Satisfying Life—How to Attain It
◼ “Mu nsi yonna, abantu banoonya obulamu obusingako obulungi. Olowooza kirisoboka okufuna obulamu obumatiza?”—lup. 29, kat. 6; 2 Peet. 3:13.
A Book for All People
◼ “Olowooza Baibuli erimu amagezi agayinza okutuyamba leero?”—lup. 22, ebigambo ebiri waggulu mu nnukuta ez’olukono; lup. 23, kat. 3 mu kasanduuko; Nge. 25:11.
The Divine Name That Will Endure Forever
◼ “Bangi ku ffe tumanyi essaala egamba nti ‘Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.’ (Mat. 6:9) Naye wali okimanyi nti obulokozi bwaffe bwesigamye ku kumanya erinnya eryo?”—lup. 28, kat. 1; Bar. 10:13.
When Someone You Love Dies
◼ “Leero tukubaganya ebirowoozo n’abantu ku biri mu brocuwa eno esobodde okubudaabuda abantu bukadde na bukadde abafiiriddwa abaagalwa baabwe. Wali weebuuzizza obanga tuliddayo okulaba abaagalwa baffe abaafa?”—lup. 27, kat. 3; Yok. 5:28, 29.
◼ “Wali olowoozezza ku ngeri gy’oyinza okubudaabudamu omuntu afiiriddwa omwagalwa we?”—lup. 20, kat. 1; Nge. 17:17.
Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
◼ “Omwagalwa waffe bw’afa, kya mu butonde okwebuuza gy’alaze era obanga tuliddamu okumulaba. Wali weebuuzizzaako ebibuuzo nga bino?”—Ebibuuzo ebiri ku ddiba ery’emabega; Yobu 14:14, 15. Should You Believe in the Trinity?
◼ “Abantu balina endowooza ez’enjawulo ezikwata ku Katonda. Olowooza kikulu okumanya ekituufu ekikwata ku Katonda?”—lup. 3, but. 3, 7-8; Yok. 17:3.
Nnyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!
◼ “Abantu bangi balowooza nti bajja kufuna obulamu obutaggwaawo mu ggulu, naye ate eky’okubeera ku nsi emirembe gyonna okirowoozako ki?”—Ekifaananyi ekiri ku ddiba ly’akatabo; Kub. 21:4.
Gavumenti Eneereta Olusuku lwa Katonda
◼ “Abantu bangi baagala nnyo okumanya ekinaagonjoola ebizibu bye tulina leero. Olowooza waliyo gavumenti eyinza okumalawo ebizibu bino?”—lup. 3, kat. 1; Mat. 6:9, 10.