Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jul. 15
“Tunyolwa nnyo bwe tufiirwa abaagalwa baffe. Olowooza bwe bafa, wabaawo ekisigalawo nga kiramu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Yesu yawa ekisuubizo kino ekizzaamu amaanyi. [Soma Yokaana 5:28, 29.] Okuva Yesu bwe yagamba nti ‘wajja’ kubaawo okuzuukira, magazini eno erimu Ebyawandiikibwa ebituyamba okutegeera wa abafu gye bali kati.”
Awake! Jul.
“Abantu bangi bakola kyonna kye basobola okweyisa obulungi era nga bawulira nti kikulu okuba omuntu omulungi. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze akabi akayinza okubaawo singa ekyo kye tutwala okuba ekirungi kiba kibi mu maaso ga Katonda. [Soma Engero 14:12.] Ekitundu kino kinnyonnyola kye kitegeeza okuba omuntu omulungi mu maaso ga Katonda.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 20.
The Watchtower Agu. 1
“Nandyagadde okumanya endowooza yo ku nsonga eno Yesu gye yayogerako. [Soma Matayo 5:3.] Okikkiriza nti omuntu okuba omusanyufu kimwetaagisa okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku ngeri omuntu gy’ayinza okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda.”
Awake! Agu.
“Olowooza abazadde bayinza kujja wa amagezi agayinza okubayamba? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekisuubizo kino ekisangibwa mu Baibuli. [Soma 2 Timoseewo 3:16.] Magazini eno eraga engeri Baibuli gy’esobola okuyambamu abazadde okukuza obulungi abaana baabwe.”