Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jun. 15
“Tokikkiriza nti okutendeka abaana mu nsi eya kakyo kano kuba kusoomooza kwa maanyi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze nti ekyawandiikibwa kino kitukakasa nti abazadde basobola okutuuka ku buwanguzi. [Soma Engero 22:6.] Watchtower eno ewa amagezi agasobola okuyamba abazadde okutendeka abaana baabwe.”
Awake! Jun. 22
“Abamu balowooza nti okukkiririza mu Katonda tekikwatagana na sayansi. Naye obadde okimanyi nti bannasayansi abamu bagamba nti okukkiririza mu Mutonzi kikwatagana ne sayansi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Akatabo kano aka Awake! kawa obumu ku bujulizi obubaleetedde okwogera bwe batyo.” Soma Abaruumi 1:20.
The Watchtower Jul. 1
“Mu biseera ebizibu, bangi beebuuza oba nga ddala Katonda afaayo ku bantu era oba nga alaba engeri gye babonaabonamu. Ekyo wali okyebuuzizzaako? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga engeri Katonda gy’atufaako leero era n’enteekateeka z’akoze okumalawo okubonaabona.” Soma Yokaana 3:16.
Awake! Jul. 8
“Eri abasinga obungi, emyaka egy’obutiini gibaamu essanyu n’okusoomooza. Gwe ekyo okikkiriza? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eyogera ku nkyukakyuka abavubuka ze bayitamu. Era ewa amagezi agayinza okubayamba okuba n’obulamu obulungi mu biseera byabwe eby’obutiini.” Soma Omubuulizi 12:1.