Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jjun. 15
“Abantu abamu balowooza nti Yesu ye muntu eyasingayo okwatiikirira mu byafaayo. Abalala babuusabuusa obanga ddala yaliwo. Olowooza kye tulowooza ku Yesu kikulu? [Nga amaze okuddamu, soma Ebikolwa 4:12.] Bujulizi ki obuliwo obulaga nti Yesu ddala yaliwo ku nsi? Magazini eno eddamu ekibuuzo ekyo.”
Awake! Jjun. 22
“Abantu bangi beeraliikirira ebikwata ku mbeera y’obutonde. Olowooza kirisoboka okukuuma ebibira byaffe? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola kaweefube akolebwa kati okusobola okukuuma ebibira. Era eraga engeri ekisuubizo kino ekirungi ekiva eri Katonda gye kijja okutuukirizibwamu.” Soma Isaaya 11:9.
The Watchtower Jjul. 1
“Ekimu ku ebyo abantu bye basinga okwetaaga kwe kwagala n’okwagalibwa. [Soma obugambo obutono obuli wansi w’omutwe ku lupapula 3.] Kyokka, okirabye nti abantu bangi ennaku zino bassa essira ku bintu ebirala? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola okwagala okwa nnamaddala era n’engeri gye tuyinza okukukulaakulanyamu.” Soma 1 Abakkolinso 13:2.
Awake! Jjul. 8
“Abantu bangi beeraliikirivu olw’ebikolwa eby’ettemu ebigenda byeyongera. [Waayo ekyokulabirako ekimanyiddwa mu kitundu kyo, era muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno emenya ensonga ezimu eziviiriddeko ebikolwa eby’ettemu. Era ennyonnyola engeri Katonda gy’alimalirawo ddala ebikolwa eby’ettemu.” Soma Zabbuli 37:10, 11.