Programu Empya ey’Olukuŋŋaana olw’Olunaku Olumu
Oluvannyuma lw’okuweebwa amaanyi g’omwoyo omutukuvu, Abakristaayo abaasooka baanyiikira okubunyisa amawulire amalungi buli wamu. (Bik. 1:8; Bak. 1:23) Programu y’olukuŋŋaana olw’olunaku olumu ey’omwaka gw’obuweereza ogwa 2007, erina omutwe: “Nyiikirira Okubuulira Ekigambo,” ejja kutukubiriza okukoppa ekyokulabirako kyabwe ekirungi.—Bik. 18:5.
Ng’ayogera ku kigambo kya Katonda, Kabaka Dawudi yagamba nti: “Okutegeeza kwa Mukama kunywevu, okuwa abasirusiru amagezi.” (Zab. 19:7) Programu etegekeddwa obulungi ey’olukuŋŋaana olunaabaawo mu 2007, ejja kulaga omugaso gw’okukozesa Ebyawandiikibwa mu ‘kutereezanga ensonga,’ era etukubirize okubuulira n’okuyigiriza Ekigambo kya Katonda nga tujjukira obukulu bw’ebiseera bye tulimu. (2 Tim. 3:16, 17) Programu eno empya ejja kulaga engeri gye tusobola okwewala emitawaana ne tuganyulwa mu kukozesa emisingi gya Baibuli mu bulamu bwaffe obwa bulijjo. Ate era ejja kutuyamba okulaba engeri gye tusobola okukozesa Ekigambo kya Katonda okuyamba abavubuka n’abappya okukulaakulana mu by’omwoyo.
Fuba okubeerawo programu ng’etandika, era osseeyo nnyo omwoyo. Baako by’owandiika ebinaakuyamba. Wuliriza bulungi ebinaayigirizibwa, era ofumiitirize ku ngeri gy’oyinza okubissa mu nkola.
Programu y’olukuŋŋaana olw’olunaku olumu ejja kutuyamba okwongera okusiima Ekigambo kya Katonda, okuba abanyiikivu mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, era etulage n’engeri gye tusobola okuyamba abalala okukola kye kimu. N’olwekyo fuba okulaba nti tosubwa bulagirizi Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu nteekateeka nga zino!—Is. 30:20b, 21.