LUTEREKE
Ntwala Ntya Obutundutundu Obuggiddwa mu Musaayi n’Enzijanjaba Ezizingiramu Okukozesa Omusaayi Gwange?
Baibuli eragira Abakristaayo “okwewala . . . omusaayi.” (Bik. 15:20) N’olwekyo, Abajulirwa ba Yakuwa tebakkiriza kuweebwa musaayi wadde ekimu ku bitundu byagwo ebina ebikulu, kwe kugamba plasma, platelets, obutoffaali obumyufu n’obweru. Ate era tebagaba musaayi oba okukkiriza omusaayi gwabwe okuterekebwa n’oluvannyuma gubateekebwemu.—Leev. 17:13, 14; Bik. 15:28, 29.
Obutundutundu bw’omusaayi bwe buluwa, era lwaki buli Mukristaayo alina okwesalirawo ku lulwe obanga anaabukkiriza oba nedda?
Obutundutundu bw’omusaayi bwebwo obuggibwa mu musaayi okuyitira mu nkola eyitibwa fractionation. Ng’ekyokulabirako, plasma, ekimu ku bitundu ebina ebikulu eby’omusaayi, kiyinza okwawuzibwamu obutundu buno wammanga: amazzi 91%; zipuloteni nga albumins, globulins, ne fibrinogen, 7%; era n’ebintu ebirala, ng’ekiriisa, hormones, emikka egy’enjawulo, zivitamini, electrolytes n’ebyo omubiri bye gutakyetaaga, byonna awamu biwera 1.5%.
Obutundutundu ng’obwo nabwo buzingirwamu mu kiragiro eky’okwewala omusaayi? Baibuli terina ky’eyogera butereevu ku bikwata ku kukozesa butundutundu obwo obw’omusaayi. Obutundutundu obw’engeri eyo bungi buggibwa mu musaayi abantu gwe bawaayo okukozesa mu ddwaliro. Buli Mukristaayo alina okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda obanga anakkiriza okukozesa obutundutundu obwo oba nedda.
Bw’oba osalawo ku nsonga nga zino, lowooza ku bibuuzo bino wammanga: Nkitegeera bulungi nti okugaana obutundutundu bwonna kitegeeza nti mba sirina kukkiriza ddagala erimu, gamba ng’eryo erirwanyisa endwadde ezimu oba eryo eriziyiza omusaayi obutafuluma mungi? Nsobola okunnyonnyola omusawo ensonga lwaki nzikiriza oba ŋŋaana okukozesa obutundutundu obumu obuba buggiddwa mu musaayi?
Lwaki nnina okwesalirawo ku nzijanjaba ezimu ezizingiramu okukozesa omusaayi gwange?
Wadde ng’Abakristaayo tebagaba musaayi oba okukkiriza ogwabwe okuterekebwa n’oluvannyuma gubateekebwemu, engeri ezimu ez’okukebera oba okujjanjaba omulwadde nga bakozesa omusaayi gwe, tezikontana butereevu na misingi gya Baibuli. N’olwekyo, buli omu alina okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda obanga anakkiriza oba anaagaana engeri ezimu ez’obujjanjabi ezizingiramu okukozesa omusaayi gwe.
Bw’oba osalawo ku nsonga zino, weebuuze ebibuuzo bino: Omusaayi gwange ogumu bwe guba nga gujja kuyisibwako mu kyuma ekiyungiddwa ku mubiri gwange kabekasinge guyimirizibweko mu kyuma ekyo nga tegunnazzibwa mu mubiri, omuntu wange ow’omunda ananzikiriza okugutwala nti gukyali kitundu kya mubiri gwange, ne kiba nti tegulina ‘kuyiibwa ku ttaka’? (Ma. 12:23, 24) Omuntu wange ow’omunda atendekeddwa Baibuli anannumiriza singa mu kiseera nga banzijjanjaba ogumu ku musaayi gwange guggibwamu ne gulongoosebwa ate ne guzzibwa mu mubiri gwange? Nkimanyi nti bwe mba ŋŋaanyi obujjanjabi bwonna obuzingiramu okukozesa omusaayi gwange kiba kitegeeza nti era sirina kukkiriza bujjanjabi nga dialysis wadde okukozesa ekyuma ekikola ng’omutima oba amawuggwe? Nsabye Katonda okumpa obulagirizi nga sinnasalawo?
Nsazeewo Ki?
Fumiitiriza ku bibuuzo ebiri ku mpapula ebbiri eziddako ez’okukolerako. Olupapula olw’Okukolerako 1 lulaga obumu ku butundutundu obuggibwa mu musaayi n’engeri gye bukozesebwa mu kujjanjaba. Jjuzaamu ky’osazeewo, obanga onokkiriza okukozesa buli kamu ku butundutundu buno oba nedda. Olupapula olw’Okukolerako 2 lulaga ezimu ku nzijanjaba ezizingiramu okukozesa omusaayi gwo. Jjuzaamu ky’osazeewo, obanga onokkiriza enzijanjaba zino oba nedda. Empapula ezo ziriwo ku kuyamba buyambi ng’ojjuzaamu kaadi eraga by’osazeewo (DPA).
Ggwe kennyini gw’olina okwesalirawo, era tolina kwesigama ku ndowooza ya muntu mulala yenna. Ate era, tewali asaanidde kuvumirira ebyo Omukristaayo omulala by’aba asazeewo. Mu nsonga zino, ‘buli omu alina okwetikka obuvunaanyizibwa bwe’.—Bag. 6:4, 5.
[Obugambo obuli wansi]
Ebisingawo ku nsonga eno bisangibwa mu Watchtower eya Jjuuni 15, 2004, olupapula 29-31.
Ebisingawo ku nsonga eno bisangibwa mu Watchtower eya Okitobba 15, 2000, olupapula 30-1, ne ku DVD eyitibwa Transfusion Alternatives—Documentary Series.
[Ekipande ekiri ku olupapula 5]
Olupapula Olw’okukolerako 1
ABAKRISTAAYO BYE BATAYINZA
OKUSALAWO KWO KUKKIRIZA
OMUSAAYI MU BULAMBIRIRA BWAGWO
OBUTUNDUTUNDU OBUGGIBWA MU MUSAAYI
By’Olina Okusalawo
ALBUMIN—ABA EBITUNDU 4% EBY’AMAZZI G’OMUSAAYI
Albumin akatundutundu kano kaggibwa mu kitundu ky’omusaayi eky’amazzi. Ebika ebimu ebya albumin bisangibwa ne mu bimera, mu mata, mu magi era ne mu mabeere g’omukazi ayonsa. Albumin aggibwa mu musaayi oluusi agattibwa mu mazzi ge bateeka ku balwadde abaweddemu omusaayi muntu ayokeddwa ennyo omuliro. Amazzi ng’ago gayinza okuba ng’ebitundu 25 ku buli kikumi ebya albumin. Era albumin omutono ennyo akozesebwa mu kukola ebika by’eddagala bingi, nga mwe muli n’eryo eriyitibwa erythropoietin (EPO).
___ Nzikiriza albumin
oba
____ Sikkiriza albumin
IMMUNOGLOBULINS—ZIBA EBITUNDU 3% EBY’AMAZZI G’OMUSAAYI
Obutundutundu buno busobola okukozesebwa mu kukola ddagala erirwanyisa endwadde, gamba nga diphtheria, tatanasi, obulwadde bw’ekibumba, ne rabies. Buyinza n’okukozesebwa mu kuyamba omwana ali mu lubuto obutakwatibwa bulwadde obumu obw’akabi, n’okujjanjaba omuntu abojjeddwa omusota oba afuyiddwa nnabbubi.
____ Nzikiriza immunoglobulins
____ oba
____ Sikkiriza immunoglobulins
OBUTUNDUTUNDU OBUZIYIZA OMUSAAYI OKUFULUMA ENNYO—BULI 1% EKY‘AMAZZI G’OMUSAAYI
Waliwo protein ez’enjawulo eziyamba omusaayi obutafuluma nnyo. Ezimu ziweebwa abantu abatera okujja amangu omusaayi. Era ziteekebwa ne ku biwundu gamba ng’eby’omuntu eyaakalongoosebwa n’alekera awo okujja musaayi. Eddagala erimu eriziyiza omusaayi obutafuluma nnyo liyitibwa cryoprecipitate. Weetegereze: Ennaku zino waliwo eddagala ery’ekika kino nga terikolebwa mu butundutundu bwa musaayi.
____ Nzikiriza obuva mu musaayi
____ oba
____ Sikkiriza buva mu musaayi
HEMOGLOBIN—ALI 33% EBY’OBUTOFFAALI OBUMYUFU
Kano ke katundutundu k’omusaayi akatambuza mu mubiri gwonna omukka gwe tussa ate ne katwala mu mawuggwe ogwo omubiri gwe gufulumya. Obutundutundu obw’ekika kino obuggiddwa mu musaayi gw’abantu oba ogw’ebisolo buyinza okukozesebwa okujjanjaba abalwadde abatalina musaayi oba abo abavuddemu omusaayi omungi.
____ Nzikiriza hemoglobin
____ oba
____ Sikkiriza hemoglobin
HEMIN—TAWEZA BITUNDU 2% EBY’OBUTOFFAALI OBUMYUFU
Akatundutundu kano kaggibwa mu hemoglobin era kakozesebwa okujjanjaba ekika ky’obulwadde bw’omusaayi omuntu bw’asikira okuva ku bazadde be (obuyitibwa porphyria) obukwata ebyenda, obusimu bw’omubiri era n’ebitundu ebitambuza omusaayi.
____ Nzikiriza hemin
____ oba
____ Sikkiriza hemin
INTERFERONS—ZIBA KATUNDUTUNDU AKASIRIKITU AK’OBUTOFFAALI OBWERU
Zirwanyisa obuwuka ne kookolo. Weewaawo interferons ezisinga teziggibwa mu musaayi, ezimu ziggibwa mu butundutundu bw’obutoffaali obweru.
____ Nzikiriza eziva mu musaayi
____ oba
____ Sikkiriza ziva mu musaayi
PLATELETS
We twogerera, tewali butundutundu buggibwa mu platelets bukozesebwa mu kujjanjaba.
CELL SALVAGE
Ekuyamba obutafiirwa musaayi mungi. Omusaayi ogukuvaamu ng’olongoosebwa gukuŋŋaanyizibwa, ne guggibwamu obucaafu era oluusi bagukuzzaamu butereevu.
____ Nzikiriza
____ Nnyinza okukkiriza
____ Sikkiriza
HEMODILUTION
Ekuyamba obutafiirwa musaayi mungi. Bwe baba bakulongoosa, omusaayi guyisibwa mu bupiira ne gubaako we gukyamizibwa era ne bakuteekako eccupa z’amazzi. Mu ngeri eyo, oguba gukusigaddemu guba gusaabuluddwa ne guba nga gulimu obutoffaali obumyufu butono. Nga bakyakulongoosa oba nga bamaze, omusaayi guli baguta ne gukomawo mu mubiri.
____ Nzikiriza
____ Nyinza okukkiriza
____ Sikkiriza
OKUKOZESA EKYUMA EKIKOLA NG’OMUTIMA OBA AMAWUGGWE
Kiyamba omusaayi okusigala nga gutambula. Omusaayi guyisibwa mu kyuma ekiguteekamu omukka gwe tussa ate ne gukuzzibwamu.
____ Nzikiriza
____ Nyinza okukkiriza
____ Sikkiriza
OKUKOZESA EKYUMA EKIGGYA OBUCAAFU MU MUSAAYI (DIALYSIS)
Kikola ng’ensigo. Omusaayi gutambuzibwa nga guyitira mu kyuma okuggyibwamu obucaafu ate ne gukomawo mu mubiri gwo.
____ Nzikiriza
____ Nyinza okukkiriza
____ Sikkiriza
EPIDURAL BLOOD PATCH
Enkola eno eziba awabadde wafulumira amazzi g’omu nkizi. Okubibwa mu kabubi akabisse ku nkizi empiso eteekeddwamu omusaayi gwo omutonotono. Ekigendererwa kwe kuziba awo awabadde wafulumira amazzi g’omu nkizi
____ Nzikiriza
____ Nnyinza okukkiriza
____ Sikkiriza
PLASMAPHERESIS
Ngeri ya bujjanjabi. Omusaayi gwo guggibwamu ekitundu kyagwo eky’amazzi. Oluvannyuma baguteekamu amazzi amalala agakola omulimu gwe gumu ne bagukuzzaamu. Abasawo abamu bayinza okwagala okukozesa amazzi ge baggye mu muntu omulala. Bwe kiba bwe kityo, Omukristaayo tayinza kukkiriza nzijanjaba eno.
____ Nzikiriza
____ Nnyinza okukkiriza
____ Sikkiriza
OKULAMBA OMUSAAYI (LABELING)
Enkola eno yeeyambisibwa mu kuzuula obulwadde oba okubujjanjaba. Bakuggyako omusaayi ne baguteekamu eddagala, ne bagukuzzaamu. Ekiseera omusaayi kye gumala nga tebannagukuzzaamu kiyinza okusinziira ku bintu ebiwerako.
____ Nzikiriza
____ Nnyinza okukkiriza
____ Sikkiriza
PLATELET GEL; AUTOLOGOUS (EKITEGEEZA “BIKOLEBWA MU MUSAAYI GWO”)
Ezibikira ebiwundu, eyamba omusaayi obutagenda nnyo. Oggibwako omusaayi ne gwongerwamu platelets n’obutoffaali obweru. Omusaayi guno guteekebwa ku biwundu oba mu bitundu awaba walongooseddwa. Weetegereze: Oluusi obutundutundu obuggiddwa mu musaayi gw’ente bweyambisibwa.
____ Nzikiriza
____ Nnyinza okukkiriza
____ Sikkiriza
Weetegereze: Buli musawo akozesa enzijanjaba zino mu ngeri ya njawulo. Saba omusawo wo akunnyonnyole bulungi kiki ddala ky’agenda okukola osobole okukakasa nti enkola gy’agenda okukozesa tekontana na misingi gya Baibuli era na muntu wo ow’omunda.