Enkizo Zaffe Tuzitwala nga za Muwendo Nnyo!
1 Mu byafaayo by’omuntu byonna, Yakuwa abadde awa abaweereza be enkizo ezitali zimu. Enkizo zino aziwadde abasajja n’abakazi ab’emyaka egy’enjawulo era abali mu mbeera ezitali zimu. (Luk. 1:41, 42; Bik. 7:46; Baf. 1:29) Nkizo ki Yakuwa z’atuwa leero?
2 Ezimu ku Nkizo ze Tulina: Tulina enkizo ey’okuyigirizibwa Yakuwa. (Mat. 13:11, 15) Enkizo endala gye tulina ye y’okutendereza Yakuwa, nga tubaako bye tuddamu mu nkuŋŋaana z’ekibiina. (Zab. 35:18) Twogera n’ebbugumu bwe tufuna akakisa okubaako kye tuddamu. Mu ngeri y’emu, bwe tutwala buli buvunaanyizibwa obutuweebwa mu kibiina ng’enkizo, tujja kufuba nnyo nga bwe tusobola okubutuukiriza. Tugitwala nga nkizo okuyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka obutayosa n’okukikuuma nga kiri mu mbeera nnungi?
3 Wadde ng’obukadde n’obukadde bw’abantu babuusabuusa obanga ddala Katonda awulira okusaba kwabwe, ffe tulina enkizo ya maanyi olw’okuba okusaba kwaffe kuwulirwa oyo asingirayo ddala ekitiibwa mu butonde bwonna. (Nge. 15:29) Yakuwa kennyini y’awulira okusaba kw’abaweereza be. (1 Peet. 3:12) Tusobola okumutuukirira mu kusaba ekiseera kyonna. Nga tulina enkizo ya maanyi, okuba nga tusobola okusaba “buli kiseera”!—Bef. 6:18.
4 ‘Tukolera Wamu ne Katonda’: Emu ku nkizo ezisingayo obulungi ze tulina kwe kulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda, ng’abo ‘abakolera awamu ne Katonda.’ (1 Kol. 3:9) Guno gwe mulimu ogutuwa essanyu n’obumativu. (Yok. 4:34) Yakuwa tekimwetaagisa kukozesa bantu kutuukiriza mulimu guno, naye agutuwadde kubanga atwagala. (Luk. 19:39, 40) Wadde kiri kityo, enkizo eno tagiwadde buli muntu. Waliwo ebisaanyizo eby’eby’omwoyo ebirina okutuukirizibwa abo abeenyigira mu mulimu gw’okubuulira. (Is. 52:11) Tulaga nti tusiima enkizo eno nga twenyigira mu buweereza buli wiiki?
5 Enkizo Yakuwa z’atuwa zituleetera okuba n’ekigendererwa mu bulamu. (Nge. 10:22) Tozitwala ng’ekintu ekitono! Bwe tukyoleka nti enkizo zaffe ez’obuweereza tuzitwala nga za muwendo, tusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu, Omugabi wa “buli kirabo ekirungi, na buli kitone ekituukirivu.”—Yak. 1:17.