LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 8/07 lup. 1
  • Okusinziza Awamu Yakuwa ng’Amaka

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okusinziza Awamu Yakuwa ng’Amaka
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Similar Material
  • Enteekateeka Eganyula Amaka
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Okuzimba Amaka Amanywevu mu by’Omwoyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Okusinza kw’Amaka—Kusobola Okuba Okunyuvu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Okusinza kw’Amaka Kye Ki?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 8/07 lup. 1

Okusinziza Awamu Yakuwa ng’Amaka

1 Mu biseera bya Baibuli, waaliwo ebintu bingi ab’omu maka bye baakoleranga awamu. Baakoleranga wamu emirimu gy’awaka, n’ekisinga obukulu baasinzizanga wamu Yakuwa. (Leev. 10:12-14; Ma. 31:12) Mu bifo bingi leero, ebintu bitono nnyo ab’omu maka bye bakolera awamu. Wadde kiri kityo, Abakristaayo bamanyi omuganyulo oguli mu kukolera awamu ebintu ng’amaka, naddala bwe kituuka ku kusinza. Nga kiteekwa okuba nga kisanyusa nnyo oyo Eyatandikawo amaka okulaba ng’amaka gamusinziza wamu!

2 Mubuulire ng’Amaka: Okukolera awamu mu kubuulira amawulire amalungi kireetera amaka okuba obumu. N’olwekyo, ng’oggyeko okubuulira awamu n’abalala mu kibiina, omukadde era asaanidde okulaba nti tayosa kubuulira na mukyala we awamu n’abaana be. (1 Tim. 3:4, 5) Wadde nga balina eby’okukola bingi, n’abalabirizi abatambula basaanidde okukola enteekateeka okubuulirako ne bakyala baabwe.

3 Abazadde ababuulira awamu n’abaana baabwe basobola okubayamba okufuna obumanyirivu mu mulimu gw’okubuulira. Abaana tebajja kukoma ku kulaba nti bazadde baabwe banyumirwa okubuulira naye era bajja kubalaba nga booleka okwagala kwe balina eri Yakuwa n’eri bantu bannaabwe. (Ma. 6:5-7) Abaana ne bwe baba nga bakuzeemu, kikulu abazadde okweyongera okubuulira nabo. Omugogo ogumu ogw’abafumbo bakyabuulira obutayosa ne batabani baabwe abasatu abali wakati w’emyaka 15 ne 21. Kitaabwe yagamba bw’ati: “Tubaako kye tubayigiriza buli lwe tubuulira nabo. Era tufuba okulaba nti banyumirwa okubuulira.”

4 Mutegekere Wamu: Amaka gakisanze nga kya muganyulo nnyo okweteekerateekera awamu nga bagenda mu buweereza bw’ennimiro. Abaana batera okunyumirwa okwegezaamu n’ab’omu maka gaabwe mu ebyo bye banaayogera mu buweereza. Abamu bakozesa eddakiika entonotono oluvannyuma lw’okusoma kw’amaka, ne beegezaamu.

5 Tufuna essanyu lingi bwe twenyigira mu mirimu emikulu ennyo era egimatiza nga tuli wamu n’abo be twagala. Nga kiba kya ssanyu nnyo ab’omu maka bwe bakolera awamu mu buweereza bw’ennimiro nga babuulira nnyumba ku nnyumba, nga baddiŋŋana, era nga bayigiriza abantu Baibuli! Bw’osinza Yakuwa ng’oli wamu n’ab’omu maka go, ojja kusobola okwogera n’essanyu nti: ‘Nze n’ab’omu nnyumba yange, tunaaweerezanga Yakuwa.’​—Yos. 24:15, NW.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share