Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Twandyambadde tutya nga tugenda mu bifo ebikozesebwa mu kuweereza Yakuwa?
Okwetooloola ensi yonna, Ebizimbe by’Obwakabaka, Ebizimbe by’Enkuŋŋaana Ennene, amaka ga Beseri, ne ofiisi z’amatabi bifo bya njawulo ebiweereddwayo okukozesebwa mu kuweereza Yakuwa. Olw’okuba ebifo bino birabirirwa bulungi ng’era biyonjo, endabika yaabyo eweesa ekitiibwa. Byawukanira ddala ku ebyo ebisinga obungi ebikozesebwa mu nteekateeka ya Setaani. Abo abakyala mu bifo bino ebikozesebwa mu buweereza bwa Yakuwa nabo basaanidde okulabika ng’abantu ba Yakuwa era abakola by’ayagala.
Ng’Abakristaayo, ‘tulaga nti tuli baweereza ba Katonda’ mu byonna bye tukola, nga mw’otwalidde n’engeri gye twambalamu ne gye twekolako. (2 Kol. 6:3, 4, NW) Era tusaanidde okweyisa obulungi. Buli kiseera tusaanidde okukakasa nti ennyambala yaffe n’okwekolako biweesa ekitiibwa era nti bisaanira abaweereza ba Yakuwa Katonda. Kino tusaanidde okukijjukira naddala nga tugenda okukyala ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa ekiri mu New York awamu ne ku ofiisi z’amatabi amalala okwetooloola ensi yonna.
Nga koogera ku bukulu bw’okwambala n’okwekolako mu ngeri esaanira, akatabo Organized to Do Jehovah’s Will kalaga nti kikulu nnyo okuba abayonjo, okwambala obulungi, era n’okwekolako mu ngeri esaanira nga tugenda mu buweereza bw’ennimiro ne mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Ate ku lupapula 138, akatundu 3, kagamba nti: “Kijjukire nti erinnya Beseri litegeeza ‘Nnyumba ya Katonda.’ N’olwekyo, bwe tuba tugenda mu bifo bino, tusaanidde okwambala, okwekolako, era n’okweyisa mu ngeri y’emu nga bwe tuba mu nkuŋŋaana zaffe mu Kizimbe ky’Obwakabaka.” Ababuulizi b’Obwakabaka ababeera okumpi awamu n’abo abava ewala basaanidde okugoberera omutindo guno ogwa waggulu bwe baba bakyala mu maka ga Beseri. Mu ngeri eno, oyo aba akyadde akyoleka nti asiima ekifo kino era nti akiwa ekitiibwa.—Zab. 29:2.
Ennyambala yaffe esaanidde okutwawulawo ng’abo “abeeyita abatya Katonda.” (1 Tim. 2:10) Bwe twambala obulungi era ne twekolako mu ngeri esaanira, kireetera abalala okuwa ekitiibwa okusinza kwa Yakuwa okw’amazima. Wadde kiri kityo, kyetegerezeddwa nti abamu ku baganda baffe ne bannyinaffe bwe baba bagenda okukyala mu bifo ebikozesebwa mu kuweereza Yakuwa, bambala mu ngeri ey’ekisaazisaazi ennyo oba eraga ebitundu by’omubiri ebitasaanidde kulagibwa. Omukristaayo tasaanidde kwambala bw’atyo k’abe ng’ali mu kifo ki. Ku nsonga eno awamu ne mu mbeera zonna ez’Ekikristaayo, twagala okugoberera emitindo egya waggulu egyawulawo abantu ba Katonda okuva ku nsi, nga tukola byonna olw’ekitiibwa kya Katonda.—Bar. 12:2; 1 Kol. 10:31.
N’olwekyo, bw’oba ogenda okukyala ku kitebe ekikulu awamu ne ku ofiisi z’ettabi mu New York oba ku ofiisi z’ettabi endala zonna, weebuuze: ‘Ennyambala yange n’okwekolako bituukagana bulungi n’ekifo kino kye ŋŋendamu? Biwa ekifaananyi ekirungi ku Katonda gwe nsinza? Abalala baneesittala olw’endabika yange?’ Ka bulijjo ‘tuyonjenga okuyigiriza kw’Omulokozi waffe Katonda mu byonna,’ nga twambala era nga twekolako mu ngeri esaanira!—Tito 2:10.