LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 5/02 lup. 6
  • Okwambala n’Okwekolako mu Ngeri Ennungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okwambala n’Okwekolako mu Ngeri Ennungi
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Similar Material
  • Engeri gy’Oyambalamu Eweesa Katonda Ekitiibwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Lwaki Kikulu Okufaayo ku Nnyambala Yaffe ne ku Ndabika Yaffe?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Tukubirizibwa ‘Ebintu bya Katonda eby’Ekitalo’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
km 5/02 lup. 6

Okwambala n’Okwekolako mu Ngeri Ennungi

1 “Abasajja bonna, nga mw’otwalidde n’abalenzi, basibye ettaayi. Abawala bonna, abatiini n’abato ennyo, bambadde ebiteeteeyi oba sikaati. Tewali n’omu ayambadde jjiini oba ssaati nga tasibye ttaayi. Buli muntu musanyufu.” Bw’atyo omusasi w’amawulire bwe yayogera. Bantu ba ngeri ki be yali ayogerako? Bantu abaali mu lukuŋŋaana olw’eby’obufuzi? Baali abo abalaba omuzannyo oba endongo? N’akatono! Yali ayogera ku kibinja kya baganda baffe ne bannyinaffe abaali mu lukuŋŋaana olumu olunene omwaka oguwedde.

2 Mu lukuŋŋaana olulala olunene olwali mu kibuga ekirala, omusasi w’amawulire yayogera bw’ati ku Bajulirwa ba Yakuwa abaali bakuŋŋaanye: “Abasajja bonna bayonjo era bambadde masuuti n’amataayi. Abakyala nabo bambadde bulungi.” Omukuumi w’ekifo ekyo yagamba: “Mweyisa bulungi, muwa abalala ekitiibwa, era muli bayonjo. Buli kye ndaba wano kisikiriza. Mu nsi eno enjama, musobodde okwegobako obujama!” Nga baatwogerako bulungi nnyo! Tekitusanyusa nnyo okulaba nti oluganda lwaffe lwogerwako bulungi nnyo bwe lutyo? Kya lwatu, bonna abaaliwo mu lukuŋŋaana olwo baayoleka endabika ennungi eyabaviirako okwogerwako obulungi.

3 Tumanyiddwa mu nsi yonna olw’okubeera ab’enjawulo ennyo mu ndabika yaffe. (Mal. 3:18) Lwaki? Kubanga tugoberera okubuulirira okw’omu Byawandiikibwa okukwata ku ‘kwambala ebyambalo ebisaanira, era nga twegendereza nga bwe kigwanidde abo abeeyita abatya Katonda.’​—1 Tim. 2:9, 10.

4 Ennyambala Yo n’Okwekolako Byoleka Ki? Engoye ze twambala era n’engeri gye tuzambalamu birina kye biraga ku ffe, kwe kugamba, enzikiriza yaffe, endowooza yaffe, n’ebigendererwa byaffe. Emisono gye tulondawo gyoleka kye tuli ne kye tukiikirira. Tetusaanidde kutumbula ndowooza na nneeyisa mbi ebicaase ennyo mu nsi. Kye tufaako ennyo si gwe musono oguli ku mulembe naye obanga gusaanira omuntu eyeeyita omuweereza wa Katonda. (Bar. 12:2) Mu kifo ky’okwambala ebyo ebyoleka nti tulina omwoyo gwa kyetwala oba ebitussa mu ttuluba ly’abo ab’empisa ez’obugwenyufu, twagala okukyoleka nti ‘tugulumiza Katonda.’​—1 Peet. 2:12.

5 Oluusi, omuntu omuppya atalina bumanyirivu, oba omunafu mu by’omwoyo ayinza okugoberera buli musono gwonna ensi gw’ereeta nga tamaze na kulowooza ku kifaananyi kye kiwa ku Yakuwa n’ekibiina kye. Ffenna twandibadde twekebera ne tulaba obanga ddala tutwaliriziddwa endowooza y’ensi. Twandituukiridde ow’oluganda akuze mu by’omwoyo era assibwamu ekitiibwa ne tumubuuza atubuulire engeri gy’alabamu ennyambala yaffe n’engeri gye twekolako, era oluvannyuma ne tulowooza ku ebyo by’aba atugambye.

6 Abamu bakikkiriza nti bandibadde beegendereza mu ngeri gye bambalamu nga bali mu lukuŋŋaana olunene, naye ate ne bamala geeyambalira oluvannyuma lwa programu y’olunaku. Kuuma omutindo ogwa waggulu ogusaanira Abakristaayo. (2 Kol. 6:3, 4) Buli we tubeera, bukaada bw’olukuŋŋaana bwe twetimbye wamu n’engoye zaffe ezisaanira era n’engeri ennungi gye twekolako, biraga nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa. N’olwekyo, buli kiseera ennyambala yaffe yandibadde nnungi era ng’eraga nti tetuli “ba nsi.”​—Yok. 15:19.

7 Ka tukole kyonna ekisoboka okubeera abantu ‘abatukuvu eri Yakuwa Katonda waffe’ mu Lukuŋŋaana lw’omwaka guno olwa “Abalangirizi b’Obwakabaka Abanyiikivu.” Ebirungi ebinaavaamu bijja kuleetera Yakuwa ‘okutenderezebwa n’ekitiibwa.’​—Ma. 26:19.

[Akasanduuko akali ku lupapula 6]

Engeri gy’Oyinza Okuweesaamu Yakuwa Ekitiibwa:

■ Yambala mu ngeri esaanira abaweereza ba Katonda.

■ Weewale emisono egiraga omwoyo gw’ensi.

■ Yambala mu ngeri ennungi eraga obwegendereza.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share