Kola ku Bwetaavu Bwo obw’Eby’Omwoyo
1 Olukuŋŋaana lwaffe olwa District, “Abalangirizi b’Obwakabaka Abanyiikivu” oluli mu maaso awo, lutuwa omukisa ogw’enjawulo ogw’okukola ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo. Okufaananako emmere ejjudde ekiriisa, olukuŋŋaana luno lujja kutuliisa ebigambo mu ngeri ey’eby’omwoyo, ‘ebigambo eby’okukkiriza.’ (1 Tim. 4:6) Lujja kutusobozesa okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda. Era tusuubira okubuulirirwa n’okuzzibwamu amaanyi ebinaatusobozesa okwaŋŋanga ebizibu mu bulamu bwaffe. Yakuwa atukakasa: “Naakuyigirizanga [nnakuluŋŋamyanga] mu kkubo ly’onooyitangamu: nnaakuteesezanga ebigambo eriiso lyange nga liri ku ggwe.” (Zab. 32:8) Nga tuli basanyufu nnyo okufuna obulagirizi bwe mu bulamu bwaffe! Weetegereze ebimu ku bintu bye tuyinza okukola okusobola okuganyulwa mu lukuŋŋaana luno mu bujjuvu.
2 Twetaaga Okuteekateeka Emitima Gyaffe: Buli omu ku ffe alina obuvunaanyizibwa obw’okukuuma omutima gwe ogw’akabonero. (Nge. 4:23) Kino kitwetaagisa okwefuga era n’okubeera abeesimbu mu ngeri gye twewuliramu. Ekiseera ky’olukuŋŋaana kiba kya kufumiitiriza ku nkolagana yaffe ne Yakuwa, kiba kiseera kya ‘kutunula mu mateeka amatuukirivu ag’eddembe.’ Okusobola okuteekateeka emitima gyaffe ‘okukkiriza ekigambo,’ tulina okwegayirira Yakuwa okutukebera, atulage ‘ekkubo lyonna ebbi’ eryetaagisa okugololwa, era ataluŋŋamye mu “kkubo eritakoma.”—Yak. 1:21, 25; Zab. 139:23, 24.
3 Wuliriza era Ofumiitirize: Yesu yasiima Malyamu olw’okussaayo ennyo omwoyo ku bigambo bye, era n’agamba: “Malyamu alonzeewo omugabo ogwo omulungi ogutalimuggibwako.” (Luk. 10:39, 42) Bwe tunaabeera n’endowooza ng’eyo, tetujja kuganya buntu butaliimu kutuwugula. Tujja kukkalira era tuwulirize bulungi mu lukuŋŋaana lwonna. Tujja kwewala okwogerayogera wamu n’okutambulatambula ekiteetaagisa. Era tujja kwegendereza obutawugula balala na busimu bwaffe, kamera n’ebirala ebiringa ebyo.
4 Nga tuwuliriza, kirungi okubaako ne bye tuwandiika ebitonotono kituyambe okwekenneenya engeri omutwe gw’emboozi gye gukulaakulanyizibwamu. Tulina okukwataganya bye tuwulira n’ebyo bye twayiga edda. Kino kijja kutuyamba okutegeera n’okujjukira ebyogerwa. Bwe tuba twejjukanya bye twawandiise, tukikole nga tulina ekigendererwa eky’okubissa mu nkola. Kiba kirungi buli omu ku ffe okwebuuza: ‘Kino kikwata kitya ku nkolagana yange ne Yakuwa? Nkyukakyuka ki ze nneetaaga okukola mu bulamu bwange? Nnyinza ntya okussa mu nkola bye njize bwe mba nkolagana n’abalala? Nnyinza ntya okubikozesa mu buweereza bwange?’ Nyumyako n’abalala ku nsonga ezisinze okukunyumira. Okukola bwe tutyo kijja kutuyamba okukuumiranga ebigambo bya Yakuwa ‘wakati mu mutima gwaffe.’—Nge. 4:20, 21.
5 Ka Tusse mu Nkola Bye Tuyiga: Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana lwa district, omu ku baalulimu yagamba: “Olukuŋŋaana lwali lukwata ku buli muntu kinnoomu, nga lukubiriza buli omu okukebera embeera y’omutima gwe wamu n’ey’ab’omu maka ge era n’okubayamba mu by’omwoyo mu ngeri ey’okwagala. Lunnyambye okweyongera okumanya obuvunaanyizibwa bwange obw’okuyamba ekibiina mu ngeri esingawo.” Kyandiba nga bangi ku ffe twali tuwuliddeko bwe tutyo. Naye okuva mu lukuŋŋaana nga tuwulira nga tuzzeemu amaanyi era nga tuwumuziddwa tekimala. Yesu yagamba: ‘Bwe mubimanya ebyo, mulina omukisa bwe mubikola.’ (Yok. 13:17) Tulina okufuba okussa mu nkola ensonga ezitukwatako. (Baf. 4:9) Eno y’engeri ey’okukola ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo mu bujjuvu.
[Akasanduuko akali ku lupapula 5]
Fumiitiriza ku By’Owulira:
■ Bye mpulira bikwata bitya ku nkolagana yange ne Yakuwa?
■ Bindeetera kweyisa ntya nga nkolagana n’abalala?
■ Nsobola ntya okubissa mu nkola mu bulamu bwange ne mu buweereza?