Osobola Okubeera Omuyigiriza!
1. Nkizo ki buli mubuulizi gy’alina?
1 Ekimu ku bintu ebisinga okuleeta essanyu mu buweereza kwe kuyigiriza omuntu amazima. Mu butuufu, kisanyusa nnyo okulaba omuntu ng’ayagala okumanya ebisingawo ku Bwakabaka era n’omuyamba okufuna enkolagana ey’oku lusegere n’Omufuzi w’obutonde bwonna. (Yak. 4:8) Buli mubuulizi yandibadde n’ekiruubirirwa eky’okuyigiriza omuntu amazima era n’okumuyamba okukola enkyukakyuka mu ngeri ze, mu ndowooza ye, ne mu nneeyisa ye.—Mat. 28:19, 20.
2. Lwaki abamu bayinza okulonzalonza okuyigiriza omuntu Baibuli, era kiki ekinaabayamba okuvvuunuka ekizibu kino?
2 Weesige Yakuwa: Mu biseera eby’edda, abamu ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa baalowooza nti baali tebasobola kukola mulimu Yakuwa gwe yali abawadde. Okwesiga Yakuwa Katonda kyasobozesa Musa, Yeremiya, Amosi, n’abantu abalala aba bulijjo okuvvuunuka okutya era ne bakola omulimu omukulu ennyo ogwali gubaweereddwa. (Kuv. 4:10-12; Yer. 1:6, 7; Am. 7:14, 15) N’omutume Pawulo ‘yafuna obuvumu.’ Mu ngeri ki? Yagamba nti ‘yafuna obuvumu okuva eri Katonda waffe.’ (1 Bas. 2:2, NW) Yee, ffenna tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa obuyambi, amagezi, n’amaanyi bye twetaaga okusobola okuyigiriza obulungi abayizi ba Baibuli.—Is. 41:10; 1 Kol. 1:26, 27; 1 Peet. 4:11.
3, 4. Kutendekebwa ki kwe tufuna okusobola okutuyamba okuyigiriza obulungi Ekigambo kya Katonda?
3 Kkiriza Okutendekebwa: Omuyigiriza waffe Omukulu, Yakuwa Katonda, atuyamba okubeera abayigiriza abalungi ng’atutendeka buli kiseera okuyitira mu nkuŋŋaana. (Is. 54:13; 2 Tim. 3:16, 17) Kkiriza okutendekebwa kuno ng’okola kyonna ky’osobola okwongera ku kumanya kw’olina okw’Ebyawandiikibwa era ng’ofuba okulongoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu amazima ga Baibuli. Wadde ng’okusingira ddala tufuna okutendekebwa kuno mu Lukuŋŋaana lw’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda awamu ne mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza, enkuŋŋaana z’ekibiina zonna zitutendeka okuyigiriza obulungi Ekigambo kya Katonda.
4 Fuba okuyiga engeri ennyangu ey’okuyigirizaamu amazima ag’omunda. Ekitabo Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, olupapula 227, kigamba nti: “Ggwe kennyini oteekwa okuba ng’otegeera bulungi ensonga gy’oyogerako okusobola okuyamba abalala okugitegeera.” Okubaako bye tuddamu mu nkuŋŋaana kituyamba okujjukira ensonga nkulu ze tujja okukozesa mu biseera eby’omu maaso. N’olwekyo, bw’otegeka obulungi, kijja kukusobozesa okwongera ku busobozi bwo obw’okuyigiriza.
5. Kutendekebwa ki okulala kwe tufuna mu kibiina okusobola okutuyamba okubeera abayigiriza abalungi?
5 Okuva edda n’edda, Abakristaayo babadde bayigira ku bannaabwe nga bakolera wamu omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa. (Luk. 10:1) Bwe kiba kisoboka, werekerako ababuulizi abalina obumanyirivu, nga mw’otwalidde ne bapayoniya, abakadde, n’abalabirizi abatambula, nga bagenda okuyigiriza abayizi ba Baibuli. Weetegereze engeri gye bannyonnyolamu amazima agali mu Kigambo kya Katonda nga bakozesa ebyokulabirako ebyangu awamu n’ebintu ebirala ebiri mu bitabo bye tukozesa nga tuyigiriza abantu Baibuli. Basabe bakuwe amagezi ku ngeri gy’oyinza okufuuka omuyigiriza omulungi. (Nge. 1:5; 27:17) Siima okutendekebwa kuno okukuweebwa ab’oluganda, okuva bwe kiri nti nakwo kuba kuvudde eri Katonda.—2 Kol. 3:5.
6. Kiki omuntu kye yeetaaga okukola okusobola okufuuka omuyigiriza w’Ekigambo kya Katonda?
6 Weesige Yakuwa, era ganyulwa mu kutendekebwa kw’atuwa. Saba Yakuwa akuyambe okukulaakulana. (Zab. 25:4, 5) Naawe osobola okufuna essanyu eriva mu kuyamba omuntu okufuuka omuyigiriza w’Ekigambo kya Katonda!