Weenyigire mu Buweereza mu Bujjuvu—Teweenyooma
1. Lwaki ababuulizi abamu batya okuyigiriza abantu Bayibuli?
1 Otya okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli olw’okuba owulira nti tosobola kuyigiriza mu ngeri ennungi? Abaweereza ba Yakuwa ab’edda, gamba nga Musa ne Yeremiya, nabo baali bawulira nti tebasobola kukola mirimu gyali gibaweereddwa. (Kuv. 3:10, 11; 4:10; Yer. 1:4-6) Naffe tusobola okuba n’enneewulira ng’eyo. Kati olwo kiki ekiyinza okutuyamba?
2. Lwaki omulimu gw’okuyigiriza abantu Bayibuli tetusaanidde kugulekera balala?
2 Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa tayinza kutugamba kukola kintu kye tutasobola. (Zab. 103:14) Mu butuufu, tusobola bulungi nnyo okukola omulimu ogwatuweebwa ‘ogw’okufuula abantu abayigirizwa n’okubayigiriza.’ (Mat. 28:19, 20) Enkizo eyo Yakuwa tagiwadde abo bokka abalina obumanyirivu oba ekitone eky’okuyigiriza. (1 Kol. 1:26, 27) N’olwekyo, tetusaanidde kukoma ku kubuulira nnyumba ku nnyumba, omulimu ogw’okuyigiriza abantu Bayibuli ne tugulekera abalala.
3. Yakuwa atutendese atya okuyigiriza abantu Bayibuli?
3 Yakuwa Atutendeka: Yakuwa y’atusobozesa okufuna ebisaanyizo eby’okufuula abantu abayigirizwa. (2 Kol. 3:5) Okuyitira mu kibiina kye, Yakuwa atuyigirizza amazima agali mu Bayibuli n’abantu abasinga okuba abayivu mu nsi ge batamanyi. (1 Kol. 2:7, 8) Yakuwa yatuwa Ekigambo kye Bayibuli tusobole okuyiga engeri Yesu, Omuyigiriza Omukulu, gye yayigirizangamu. Ate era, yeeyongera okututendeka okuyitira mu kibiina. Okugatta ku ebyo, Yakuwa atuwadde ebitabo ebisobola okutuyamba okuyigiriza abantu Bayibuli, gamba ng’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, akannyonnyola amazima mu ngeri ennyangu era etegeerekeka obulungi. Mu butuufu, okuyigiriza abantu Bayibuli si kizibu.
4. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba?
4 Yakuwa yayamba Musa ne Yeremiya okukola emirimu gye yali abawadde. (Kuv. 4:11, 12; Yer. 1:7, 8) Naffe tusobola okusaba Yakuwa atuyambe, kubanga bwe tuba tuyigiriza omuntu Bayibuli, tuba tumuyigiriza amazima agakwata ku Yakuwa ate ng’ekyo kisanyusa Yakuwa. (1 Yok. 3:22) N’olwekyo, weeterewo ekiruubirirwa eky’okuyigiriza abantu Bayibuli, kubanga kye kimu ku bisinga okutuleetera essanyu mu buweereza bwaffe.