LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 10/09 lup. 4
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Similar Material
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
km 10/09 lup. 4

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

The Watchtower Ssebutemba 1

“Bangi balowooza nti ebyo ebiri mu kitabo kya Olubereberye ebikwata ku Adamu ne Kaawa tebyaliwo. Ate abalala balowooza nti Adamu ne Kaawa ddala baaliwo. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze engeri Yesu gye yaboogerako. [Soma Makko 10:6-9.] Ekitundu kino kyongera okuwa obukakafu era kinnyonnyola ensonga lwaki kikulu okwekenneenya ekyo kye tukkiririzaamu.” Mulage ekitundu ekiri ku lupapula 12.

Awake! Ssebutemba

Soma 1 Yokaana 4:8. Oluvannyuma gamba: “Abamu balowooza nti Katonda abonereza abantu ababi mu muliro ogutazikira emirembe gyonna. Ate abalala balowooza nti endowooza eyo tetuukagana n’ekyo kye twakasoma. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kiraga ekyo Baibuli ky’eyigiriza ku nsonga eno.” Mulage ekitundu ekiri ku lupapula 10.

The Watchtower Okitobba 1

“Ffenna tufuna ebizibu mu bulamu. [Yogera ebimu ku ebyo ebiri mu kitundu kyammwe.] Olowooza Katonda asobola okutuyamba okubivvuunuka? [Muleke abeeko ky’addamu.] Mu lunyiriri luno Yesu ayogera ku ngeri emu Katonda gy’atuyambamu. [Soma Lukka 11:13.] Magazini eno ennyonnyola ekyo omwoyo omutukuvu kye guli era n’engeri gye gusobola okutuyambamu.”

Awake! Okitobba

“Ebizibu bibaawo mu buli maka. Ggwe olowooza ludda wa ab’omu maka gye basobola okufuna amagezi ageesigika era ag’omuganyulo? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Zabbuli 32:8.] Awake! eno ey’enjawulo eyogera ku misingi egiwerako egiri mu Baibuli egisobola okuyamba ab’omu maka singa bagikolerako.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share