Fuba Okutandika Okuyigiriza Omuntu Baibuli mu Okitobba
1 Mu Okitobba tujja kugaba Watchtower ne Awake! Okusobola okuddira abo ababa balaze okusiima, tukubirizibwa okubawa tulakiti Wandyagadde Okumanya Amazima? n’okufuba okutandika okubayigiriza Baibuli. Kino tuyinza kukikola tutya nga tuzzeeyo okubakyalira?
2 Engeri y’Okukozesaamu Tulakiti: Tuyinza okugamba nti: “Magazini ze nnakulekera ziyamba abantu aba buli kika n’ab’eddiini ez’enjawulo okwekenneenya Baibuli. [Muwe tulakiti Okumanya Amazima, era omulage ebibuuzo ebiri kungulu ku tulakiti eyo.] Wano waliwo ebimu ku bibuuzo ebikulu ennyo era nga Baibuli etuwa eby’okuddamu ebimatiza. Wali weebuuzizzaako ekimu ku bibuuzo bino?” Ng’omaze okufuna endowooza ya nnyinimu, mulage eky’okuddamu mu kimu ku bibuuzo bye ekiri mu tulakiti era musomere ekimu ku byawandiikibwa ebiweereddwa. Oluvannyuma munnyonnyole nti kino kye kimu ku bintu ebingi Baibuli by’eyigiriza era omuwe akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Tuyinza okukubaganya naye ebirowoozo ku butundu obusooka mu ssuula gy’aba alonze mu lukalala lw’ebyo ebiri mu katabo ako. Oba tuyinza okusalawo okumutwala awali obutundu obwongera okunnyonnyola ensonga gye tukubaganyizaako ebirowoozo mu tulakiti. Buno bwe butundu bwe tuyinza okukozesa:
● Ddala Katonda afaayo gye tuli? (lup. 9-11 kat. 6-10)
● Entalo n’okubonaabona biriggwaawo? (lup. 12, kat. 12-13)
● Kiki ekitutuukako bwe tufa? (lup. 59-60, kat. 7-8)
● Waliwo essuubi lyonna nti abafu baliddamu okuba abalamu? (lup. 71, kat. 13-15)
● Nnyinza kusaba ntya okusobola okuwulirwa Katonda? (lup. 166-167, kat. 5-8)
● Nnyinza ntya okufuna essanyu mu bulamu? (lup. 9, kat. 4-5)
3 Embeera bw’eba tetusobozesa kutandika era n’okulaga omuntu engeri gye tuyigirizaamu Baibuli mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza lwe tuba tusoose okuddayo okumukyalira, tuyinza okukola enteekateeka okuddayo ne tweyongera okukubaganya naye ebirowoozo. Era nga tusinziira ku kusiima omuntu kw’aba alaze, nga tetunnamuwa katabo tuyinza n’okusalawo okukubaganya naye ebirowoozo ku bibuuzo ebisukka mu kimu ebiri mu tulakiti ku mirundi egy’enjawulo nga tuzzeeyo okumukyalira. Ka tufube okukozesa tulakiti eno ey’omuganyulo mu Okitobba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli era n’okuyamba abantu ab’emitima emirungi ‘okumanya amazima.’—Yok. 8:31, 32.
[Ebibuuzo]
1. Bitabo ki bye tunaagaba mu Okitobba?
2. Tuyinza tutya okukozesa tulakiti Okumanya Amazima okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli nga tuzzeeyo okukyalira oyo eyatwala magazini?
3. Nga tusinziira ku mbeera ebaawo, tuyinza tutya okukyusakyusa mu ngeri gye tukozesaamu tulakiti eno?