Engeri y’Okutandikamu Okuyigiriza Abantu nga Tukozesa Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza
Bangi ku ffe twandyagadde okufuna omuntu gwe tuyigiriza Baibuli. Akatabo akapya Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza kasobola okutuyamba. Ennyanjula y’akatabo kano esangibwa ku mpapula 3-7, yategekebwa okuyamba omubuulizi okutandika okukubaganya ebirowoozo n’omuntu ku Baibuli ng’akozesa akatabo kano. N’abo abatalina bumanyirivu mu kubuulira kijja kubanguyira okutandika okuyigiriza abantu Baibuli nga bakozesa akatabo kano.
◼ Oyinza okutandika ng’okozesa ebyo ebiri ku lupapula 3:
Bw’omala okwogera ku ebyo ebyabadde mu mawulire oba ekizibu ekiruma abantu ab’omu kitundu kyo, nnyinimu musomere ebibuuzo ebiri mu nnukuta enkwafu ebiri ku lupapula 3, bw’omala omusabe abeeko ky’ayogera. Oluvannyuma mulage ebiri ku mpapula 4-5.
◼ Oba oyinza okutandika ng’oyogera ku ebyo ebiri ku mpapula 4-5:
Oyinza okumugamba, “Tekyandibadde kirungi nnyo singa ebiri mu bifaananyi bino bituukirira?” Oba oyinza okumubuuza, “Kiruwa ku bino by’olaba wano kye wandyagadde kituukirizibwe?” Wuliriza bulungi ebyo by’addamu.
Bwe wabaawo ekyawandiikibwa nnyinimu ky’ayagala okwongera okumanyako, mulage ekyo Baibuli ky’eyigiriza ku nsonga eyo ng’omubikkulira obutundu obwogera ku kyawandiikibwa ekyo. (Laba ebyo ebiri mu kasanduuko akali ku lupapula luno.) Mukubaganye ebirowoozo nga bwe wandikoze ng’oyigiriza omuntu Baibuli. Kino oyinza okukikola ku mulundi gw’osookedde ddala okwogera n’omuntu oyo ng’okozesa eddakiika ttaano oba kkumi.
◼ Oba oyinza okukozesa ebibuuzo ebiri ku lupapula 6:
Musomere ebibuuzo ebiri wansi w’olupapula 6, n’oluvannyuma omubuuze, “Wali weebuuzizzaako ku bibuuzo nga bino?” Bwe wabaawo ekimukutteko, mutwale ku katundu akaddamu ekibuuzo ekyo. (Laba akasanduuko akali ku lupapula luno.) Bwe mukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezo, ojja kuba otandise okumuyigiriza Baibuli.
◼ Oyinza okulaga omuntu engeri gye tuyigamu Baibuli ng’okozesa ebyo ebiri ku lupapula 7:
Soma sentensi essatu ezisooka era oluvannyuma genda mu ssuula 3, omulage engeri gye tuyigamu Baibuli n’abantu ng’okozesa obutundu 1-3. Kola enteekateeka okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo ebiri mu katundu 3.
Lekawo omusingi gw’onootandikirako omulundi omulala:
Bw’oba ofundikira okusoma kwammwe ku mulundi ogusooka, lekawo omusingi gw’onootandikirako omulundi omulala. Oyinza okumugamba bw’oti: “Mu ddakiika ntono nnyo, tuyize ekyo Baibuli ky’eyigiriza ku nsonga eyo enkulu. Omulundi ogujja, tujja kwogera ku [lekawo ekibuuzo kye munaakubaganyaako ebirowoozo]. Nkomewo wiiki ejja mu kiseera kye kimu?”
Ng’ekiseera kye ekigereke kigenda kisembera, Yakuwa yeeyongera okutuwa eby’okukozesa mu mulimu gwaffe. (Mat. 28:19, 20; 2 Tim. 3:17) Ka tukozese bulungi akatabo kano akapya okutandika okuyigiriza abantu Baibuli.
Akasanduuko akali ku lupapula 3]
Obutundu obwogera ku Byawandiikibwa ebiri ku mpapula 4-5
◻ Okubikkulirwa 21:4 (emp. 27-8, but. 1-3)
◻ Isaaya 33:24; 35:5, 6 (lup. 36, kat. 22)
◻ Yokaana 5:28, 29 (lup. 72-3 but. 17-19)
◻ Zabbuli 72:16 (lup. 34, kat. 19)
Aw’Okusanga eby’okuddamu mu bibuuzo ebiri ku lupapula 6
◻ Lwaki tubonaabona? (lup. 108-9, but. 6-8)
◻ Tuyinza tutya okwaŋŋanga ebitweraliikiriza mu bulamu? (lup. 184-5, but. 1-3)
◻ Tuyinza tutya okwongera okufuna essanyu mu maka? (lup. 143, kat. 20)
◻ Kiki ekitutuukako bwe tufa? (lup. 58-9, but. 5-6)
◻ Tuliddamu okulaba abaagalwa baffe abaafa? (lup. 72-73, but. 17-19)
◻ Tuyinza tutya okuba abakakafu nti Katonda alituukiriza ebisuubizo bye eby’omu biseera eby’omu maaso? (lup. 25, kat. 17)